Ebyalwanya Bobi ne Mpuuga bizzeemu
Apr 02, 2025
OLUTALO lwa pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, n’omubaka wa Nyendo - Mukungwe, Mathias Mpuuga terunnaggwa.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUTALO lwa pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, n’omubaka wa Nyendo - Mukungwe, Mathias Mpuuga terunnaggwa.
Wadde baayawukana, Kyagulanyi n’asigala mu NUP ate Mpuuga n’akola ekisinde kya Democratic Alliance, tekibalobera kweyisaamu ggaali buli omu w’afunira omukisa.
Ab’oludda oluvuganya bwe baabadde basoma embalirira yaabwe erimu bye bandikoze ssinga be babadde mu buyinza, ey’omwaka ogujja 2025/26, Kyagulanyi yayisizzaamu Mpuuga eggaali bwe yagambye nti enguzi kye kintu ekitawaanya ennyo bannabyabufuzi naddala mu Palamenti, n’awa ekyokulabirako kya Mpuuga, eyaweebwa akasiimo nga yaakatandika obuweereza.
Wano Bobi yabadde ategeeza ssente obukadde 500, obwaweebwa Mpuuga nga bamusiima emirimu gye yakola nga y’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti.
Ssente zino zaatabula Mpuuga ne NUP ng’ekibiina kimulagira azizzeeyo ate yeetondere eggwanga, ekintu Mpuuga kye yagaana, n’ayawukana bubi nnyo n’ekibiina.
Mu kwanukula, Mpuuga ng’akozesa omukutu gwe ogwa X (eyali Twitter), yazzizzaayo mizayiro n’agamba nti Kyagulanyi ebya Palamenti bw’aba abiyita bivvulu nti bimala kuggwa ne bateemateema ezivudde ku mulyango n’olyoka osasula abakozi, aba mutuufu mu by’ayogera era tamunenya.
No Comment