ABAWALA bana abagambibwa okugulibwa omusajja mu bbaala n’abatwala awaka okwesanyusaamu oluvannyuma ne bamunyaga obukadde munaana ng’atamidde bakwatiddwa ne basimbibwa mu kkooti ebasindise ku limanda e Luzira.
Resty Nakyanzi 20, Zawadi Kobusinge 23, Morvin Katusabe 18 ne Clarissy Mutesi 21, bonna bakozi mu bbaala ya Zaka e Nalukolongo mu munisipaali y’e Lubaga be basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba owa kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo n’abasomera omusango gw’obubbi bonna ne bagwegaana.
Kigambibwa nti nga August 27, 2023 mu bbaala ya Urban e Namungoona, Davis Kaweesi yagula abawala bano n’abatwala mu makaage yeesanyuseemu wabula mu kiro ng’atamidde baasituka ne balabiikiriza w’atereka ssente ne bazibba olwo ne bamalamu omusubi wabula oluvannyuma baakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi okutuusa lwe basimbiddwa mu kkooti.
Omulamuzi Byarugaba bwe yabadde abasoya ebibuuzo, Nakyanzi yategeezezza nti bonna bakozi mu bbaala emu wabula ku olwo baali bannyuse okukola mu yaabwe ku ssaawa nga mukaaga ekiro ne basalawo nabo okugenda okucakalako mu ndala e Namungoona eyo gye baafunira omusajja eyabateekamu ssente n’atandika okubagirira bbiya nabo ne benyweera.
Okuva ku kkono ye Resty Nakyanzi, Zawadi Kobusinge, Morvin Katusabe ne Clarissy Mutesi mu kkooti y'omulamuzi Byarugaba.
Yagambye nti oluvannyuma yabasaba abatwaleko awaka nabo kye bakkiriza nga bonna baatamidde dda wabula mbu obudde buba bunaatera okukya, baamusaba okuddayo gye bakolera n’abategeeza nga bw’agenda okusasula ssente zaabwe ez’olunaku era n’ayingira mu kisenge n’ajjayo emitwalo 10 n’azibawa.
Baategeezezza nti era baamusaba endala n’ayongerako naye nga bw’abegayirira nti basigale bamufumbireko bo kye baagaana era zaagenda okuwera ssaawa 12 ez’enkya ne bamugera nga yeebase olw’okuba yali atamidde ate ne badduka naye eky’okubba ssente bagamba tebaazirabako.
Baagezezaako okusaba okweyimirirwa, omulamuzi n’akigaana n’abategeeza nti k’asooke abaterekeko e Luzira bategeere ekisobola okutuuka ku muntu singa aba abbye era bw’atyo n’asindika mu kkomera ly’abakyala e Luzira okutuusa nga September 19, 2023 lwe guddamu.