Amawulire

Gaagano amakubo aganazza Biyinzika engulu

Gaagano amakubo aganazza Biyinzika engulu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AMAKUBO AGANAZZA BIYINZIKA ENGULU

Isaac Mukasa nga y'omu ku badayirekita mu kkampuni ya Biyinzika, yagambye nti mu kiseera kino bali mu kusaba Gavumenti ne Pulezidenti babayambe bafuneyo ssente ezisobola okubayamba okudda engulu bataase bizinensi eyimirizzaawo abantu abasoba mu 5,000.

Yalaze nti singa bafunayo obuwumbi 30 ne basasula amabanja, ne bafissaawo ssente ezikola emirimu, basobola okudda engulu mu bwangu, kubanga ebyuma eby'omulembe ebikola emirimu babirina.

Era bali mu nteekateeka ez'okugenda mu kkooti eyimirize bbanka okutunda ebintu ku nnyondo, nga bwe basala amagezi ag'okubazza engulu.

Singa baba tebayambiddwa kufuna ssente okuva mu Gavumenti, baagala waakiri bbanka zikkirize batuule wansi, bakole enteekateeka enaabasobozesa okusasula amabanja gano mpolampola, naye bizinensi ereme kusaanawo.

Babanjibwa obuwumbi 20 kyokka banoonya obuwumbi 30 basasule ebbanja basigazeewo ezikola emirimu.

ANNYONNYODDE OBUZIBU WE BWAVA

Mukasa yannyonnyodde nti mu 2018, baafuna looni okuva mu dfcu Bank ya bukadde busatu obwa ddoola, nga baagala okugula; ekyuma ekikola emmere y'enkoko, ettaka e Bweyogerere, okugaziya lye baasooka okufuna okuva ku kitongole kya Uganda Investiment Authority, ekivunaanyizibwa ku bya bayinvesita.

Mu dfcu baali bataddeyo omusingo gw'ettaka lya Gavumenti lye baali bafunye e Bweyogerere, oluvannyuma lw'okufuna olukusa okuva mu bitongole byonna ebya Gavumenti ebikwatibwako.

Obuzibu we bwatandikira, kye kiragiro ekyaweebwa Pulezidenti, ng'alagira bayinvesita obutaddamu kwewolera ku ttaka lya Gavumenti, ekyaleetera bbanka ya dfcu okuteeka ku Biyinzika akazito abawe omusingo omulala gwe yali teyeetegekedde.

Embeera eno yaleetawo akatuubagiro, nga tebakyasobola kuteeka ssente ku ttaka ly'e Bweyogerere, kwe kusalawo okufuna looni endala okuva mu Cairo Bank, mwe baafunira ettaka e Mukono ku kyalo Kitega ne bateekayo ekyuma ekikola emmere y'enkoko, kye baali bamaze okutumya.

Baali baakatandika okukola emirimu, ate omuggalo gwa Covid 19 we gwajjira, ne gukuba bizinensi y'enkoko ne gukamala.

Mu kiseera ekyo era baali baguze enkoko 20,000 ezizaala obukoko (parent stock), kyokka ziba zitandika okuzaala ate omuggalo ne gujja ne bafiirwa obuwumbi 5!

Oluvannyuma lw'omuggalo kasooli ne soya byalinnya nnyo, ate olw'ebbanga lye baali bamaze nga tebakola, baali tebakyalina ssente ziddukanya mirimu.

Nti baagezaako okuddayo mu dfcu ebongere ssente ezitambuza emirimu n'egaana, wadde nga Pulezidenti bo yali amaze n'abakkiriza okwewolera ku ttaka lya Gavumenti.

Ekizibu ekirala kye baafuna, nti baali bateesezza ne Cairo Bank okubasasulira ekyuma ekyaluza enkoko okuva e Belgium, nga kya 250,000 egya Euro, kyokka bwe kyatuuka wano Cairo n'eremererwa nga terina busobozi, nga balina kukwata ku byabugagga byabwe ebirala basasule. Kino nakyo kyabakuba eddibu ddene nnyo.

Buli mwezi Mukasa agamba nti babadde basasula obukadde 219 eza Uganda, ne ddoola 8,000 mu Cairo Bank kyokka bwe baatuuka mu May w'omwaka guno ne balemererwa.

BIZINENSI ZONNA ZAAYIMIRIDDE

Mukasa wakati mu nnyiike, yalaze obulumi kubanga bizinensi za Biyinzika ez'enjawulo omuli emmere y'enkoko (Tyson feeds), obukoko (Tyson Chicks), ffaamu ya ovakedo, butto wa Soya Vegetable Oil, zonna mu kiseera kino tezikyakola, wadde nga zibadde
ziriisa abantu abasoba mu 5,000 okwetooloola eggwanga.

EBIKWATA KU KAMPUNI YA BIYINZIKA

Kkampuni ya Biyinzika Entreprise Limited, yatandikibwa Samuel Mukasa Biyinzika mu 1990, ng'eri mu bizinensi ya kulunda nkoko.

Erina amatabi agasoba mu 35 okwetooloola eggwanga. Mutabani wa Biyinzika, Isaac Mukasa, agamba nti okuva 1990, kkampuni egenze egaziwa, ku kukola emmere y'enkoko n'okwaluza obukoko n'egattako okulima ovakedo n'okukamula butto.

Erina akatale okwetooloola amawanga g'obuvanjuba bwa Africa, okuli Tanzania, Kenya, Rwanda, Burundi ne Uganda.

Wansi wa kkampuni eno mulimu bizinensi ez'enjawulo, omuli eya Tyson Feeds, ekola emmere y'enkoko n'ebisolo, n'okwaluza obukoko obutundibwa ku lunaku lumu.

Kuno kw'ogatta okulima ovakedo ow'ekika kya Hass, Fuerte, ne Pinkerton, nga ebirimira ku bugazi bwa yiika 200 e Nakaseke.