Alima kaamulali n'amutunda mu bazungu
Sep 18, 2023
MAJIDU Wankwaya, omutuuze w’e Nakifuma mu ggombolola y’e Kimenyedde e Mukono, aliira ddala nga mulimi! Yasuulawo okutunda ebizigo n’adda mu kulima kaamulali ekika kya Chillies era teyejjusa kuba gumusasula omusaala omusava. Buli mwezi, ayingiza obukadde 20 era tumukuleetedde akulage engeri gy’anoga ssente mu kaamulali n’agoba obwavu

NewVision Reporter
@NewVision
MAJIDU Wankwaya, omutuuze w’e Nakifuma mu ggombolola y’e Kimenyedde e Mukono, aliira ddala nga mulimi! Yasuulawo okutunda ebizigo n’adda mu kulima kaamulali ekika kya Chillies era teyejjusa kuba gumusasula omusaala omusava. Buli mwezi, ayingiza obukadde 20 era tumukuleetedde akulage engeri gy’anoga ssente mu kaamulali n’agoba obwavu.
ENTANDIKWA
Nali musuubuzi wa bizigo era mu 2018 nga hhenda okubisuubula mu Kikuubo mu Kampala, nasisinkana mukwano gwange eyali agenda mu mwoleso gw’abalimi n’abalunzi e Jinja. Yansaba tugende ffenna kyokka nasooka kugaana kuba nali hhenda kusuubula. Yamperereza n’ammatiza ne tugenda.
Natuukira ku mudaala gwa kaamulali nga waliwo n’akalimiro akabaze bulungi. Baatunnyonnyola ebika eby’enjawulo ebya kaamulali era ne binsika ne njagala ntandike okulima ekika kya ‘hot pepper’ ekikola ttiyagaasi kyokka eyali atunnyonnyola n’ampabula nti ekika kya Chillies kye kisinga akatale ate nga ne mu kwonooneka, ‘hot pepper’ ayonooneka mangu okusinga ku Chillies akazibwa n’okukazibwa. Nava mu mwoleso n’ensigo za kaamulali ne ntandikirawo okulima.
Natandika na kulima kitono kuba saaweza na yiika wabula amakungula ge nafuna, gansanyusa era sizoni eyaddako ne mpeza ekitundu kya yiika era amakungula ne gaba malungi. Nagenda nnyongeza mpola ku bungi bwe nnima kati ndi mu yiika 5 mu nnimiro ez’enjawulo eziri ku byalo eby’enjawulo okuli; Najja, Namakomo ne Kasawo. Nayiga n’okwekolera emmeresezo nga nsooka kuyiwa nassale okumala omwezi gumu n’ekitundu oluvannyuma ne nsimbuliza. Mu bbanga lya myezi nga esatu ng’onoga kaamulali era nze ku yiika 5 ze nnina, buli wiiki nnoga kkiro ezisoba mu 5000 ze ntunda ebweru wa Uganda ekyongedde okunjagaza okulima.
ENSIMBA YA KAAMULALI
Nsooka kufuuyira ettaka we hhenda okusimba oba oluusi ne nkabala ettaka ne ligonda bulungi, kaamulali asobole okudda obulungi. Nsimba ndokwa era buli kikolo nkiwa amabanga ga ffuuti 2 ku 2 kisobole okwagaagala kisseeko amatabi agawera. Buli matabi bwe geeyongera ne kaamulali okubala era ekikolo osobola okukinogako kkiro ezitakka wansi wa bbiri buli lunoga mu buli wiiki.EBIGIMUSA N’EDDAGALA ERIFUUYIRA Nkozesa ebigimusa ebyenjawulo, bye nsooka mu kinnya kye nsimbamu kaamulali. Ebigimusa ebyaffe ebya wano birungi nnyo kuba tebiriimu butwa. Ebigimusa bino byongera kaamulali okubeera n’olususu olumasamasa n’ofunira ddala omutindo, Abazungu gwe bayayaanira.Nfuuyira wayise olunaku lumu nga bamaze okunoga ne ‘copper finger cure’ ayamba ebikoola obutafufunyala. Waliwo n’eddagala eddala erirwanyisa ekigenge n’obusaanyi mu kaamulali . Ekirungo kya BMO kye nfuuyira ku kaamulali buli wiiki ekiyamba okukwasa ekimuli, empeke okugejja n’okukuuma amazzi mu kibala.Buli wiiki nfuba okufuuyira ebiwuka olwo ne nzizaako ebigimusa nga bino ebinnyambye okwongera ku makungula n’okukuuma omutindo.AKATALENnina kontulakiti ya myaka etaano ne kkampuni 3 okuli; eya FDP ng’eno buli wiiki mbaguza ttani 2.5, eya KK mbaguza ttani 2 n’endala be nguza ttani 2 era kkampuni zino, kaamulali zimutwala mu nsi nga China, Buyindi, Canada, Bungereza ne Buwalabu. Mu kiseera kino, kkiro ya kaamulali owa Chillies ya 4,000/- ng’omusolo ku nnyingiza gumaze okuggyibwako era mu 2021, nze nasinga okutunda kaamulali gwe batwala ebweru ng’e Bungereza, natundayo ttani 300 ne bampa satifikeeti okunsiima.Wankwaya ng’ali n’abakozi be mu nnimiro. Wankwaya mu nassale ya kaamulali.
Wankwaya ng’akungula kaamulaliAkatale ne wano weekali era mu Kisenyi, Bannakenya baayayaanira nnyo kaamulali naddala omumyufu kuba bamutabula mu mmere y’enkoko.Waliwo n’akatale k’Abasudani mu Kampala era bagula ku bbeyi nnungi.
Buli wiiki nnyingiza obukadde obusoba mu 5, bwe ntoolako ze nsaasaanyiza mu kusasula abakozi mu kugula eddagala n’ebirala, nsigazaawo obukadde 2 buli wiiki era omwezi nsobola okwesasula omusaala ogutakka wansi wa bukadde 6.
Akatale ka chillies kalinnya mu biseera by’obutiti kuba ensi z’Abazungu bamwettanira nga Gavumenti zaayo zimugulira abantu basobole okufuna ebbugumu era kkiro esobola okutuuka ku 7,000/- ku 10,000. Ate lw’agudde ennyo kkiro ekoma ku 1500.
ABAKOZI
Nkozesa abakozi 56 ku nnimiro zange. Abakozi 6 mbasasula 250,000/- omwezi nga ku bano kuliko abakuuma ffaamu n’abannyambako mu kulima. Abasigadde mbasasula lwe bakoze. Abanoga kaamulali, mbasasula 300/- buli kkiro naye mbawa ekyemisana n’ez’entambula.
Asomesa abaagala okulima kaamulali
OKUKUUMA EBITABO
Mpandiika ssente ze ntadde mu nnimiro okuva ku ntandikwa kinnyamba okuzuula mang amagoba ge nfuna n’okufiirizibwa kwe nkoze. Okuwandiika
kunnyambya okuzuula abakozi abalina enkizo ku bannaabwe abamu
ne mbafuula ab’enkalakkalira. Okuwandiika era kinnyambye okuzuula amagoba ge nfuna.
OKWAGAZISIZA ABALIMI ABALALA
Nsomesa bannange okujjumbira okulima kaamulali era bangi banneegasseeko. Abaagadde mbaguza n’ensigo. Obuyonjo: Buli wiiki ssatu nnima omuddo kuba buli lwe gubeeramu gulemesa kaamulali okubala n’okukaddiya ennimiro ng’eyandinoze kaamulali omwaka mulamba, okoma ku myezi 6 gyokka kuba omuddo gumufuuwa n’atakula bulungi ekikendeeza amakungula.
Ebirara bye nnima: Mu nnimiro zange eza kaamulali nnyongeramu ebitooke kyokka kaamulali gwe nsookamu ebitooke obutamufuuwa.
Olusuku lunnyamba ku mmere awaka n’okutundako. Nnima ne kasooli,sizoni ewedde nalima ttani 5.
EBINNYAMBYE
1. Nzijumbira emisomo gy’abalimi egimpa amagezi agatali gamu mu kulima.
2. Nze nnamba emu mu nnimiro zange kuba nnyinnimu bw’atakwata mu kisibo, ente zifa nagganga. N’abakozi bakola ekibasuubirwamu nga bakulabako.
3. Nfuba okunoonyereza bakasitoma bange kye baagala ne nkuuma omutindo.
4. Okukola endagaano nekkampuni ze nguza kaamulali kinnyambye okukuuma akatale n’endagaano gye twakola emmanja okutuukiriza kye nneeyama.
BYE NFUNYEEMU
l Nguze ettaka mu bitundu eby’enjawulo okuli; Bugerere, Kasawo n’ebibanja e Kimenyedde
l Mpeeredde abaana bange.
l Obulamu bwange buli mu mbeera nnungi kuba nsobola
okufuna ssente buli we njagalira n’ab’omu maka gange
basanyufu.
l Okulima kaamulali nagufuula mulimu era nneesasula omusaala
buli mwezi.
OKUSOOMOOZEBWA
Nnina abakuumi naye era ababbi beesolossa ne banziba. Omwaka guno, baakanziba ttani 7 naye n’obutale obw’ekimpatiira obumala gagula kaamulali ku buli gwe basanze be babeezaawo ababbi bano. Nsaba Gavumenti
ewandiise abalimi ba kaamulali, buli omu aweebwe ennamba nga bw’agenda okumutunda, ayogerayo eyo ennama ne bakakasizza ddala nti amuleese okumutunda ye mulimi. Oluusi batusiba n’eddagala erifuuyira nga ffu ne kiitta amakungula gaffe.
MU MYAKA 5 MAASO Mu February w’omwaka ogujja, nsuubira okutundu kaamulali wa bukadde 10 buli wiiki kuba nnyongedde ku bungi bw’ennimiro. Nsuubira n’okugulayo mmotoka okunnyambakomu ntambuza ya kaamulali n’abakozi.
No Comment