Amawulire

Kamanda wa LDU ayimbuddwa ku by'okutta omuntu e Kawempe

KAMANDA wa LDU asonyiyiddwa ku by'okutta omuntu , kkooti emuyimbudde.

Kamanda wa LDU ayimbuddwa ku by'okutta omuntu e Kawempe
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

KAMANDA wa LDU asonyiyiddwa ku by'okutta omuntu , kkooti emuyimbudde.

L/Cpl Ronald Orono nga yali aduumira kabinja ka LDU mu bitundu bya Kawempe yabadde mu kkooti y’amagye e Makindye gy’avunaanibwa okutta omuntu wabula kkooti n'emukendeereza ku musango.

Ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Mugabe yagambye nti okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti, Orono Yakuba  Simon Sserwadda amasasi mu butanwa oluvannyuma lw'akanyoolagano akaaliwo amasasi ne gakwata Sserwadda.

Mugabe yagambye nti kkooti yeekenneenyezza obujulizi bw'enjuyi zombi n'akizuula nga Orono yali yeetaasa kubanga Sserwada yali alwanira emmundu nga ssinga yagifuna osanga Orono yeeyanditiddwa.

Mugabe yayongeddeko nti Orono gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango, ate muzadde alina abaana abeetaaga obuyambi bwe okubalabirira nga ne kitaawe yafa olw'okusibwa ka Orono bwe yali takyafuna bujjanjabi.

Bw'etyo kkooti  yamuyimbudde oluvannyuma lw’emyaka esatu n'emyezi etaano mu kkomera nga gino gyatwaliddwa nga kye kibonerezo kye ssaako kkooti okumukwatirwa ekisa olwo n'ayimbulwa wakati mu kulabulwa .

Kkooti yalabudde Orono okubeera omwegendereza ng'akola emirimu gye. Bw'atyo yalagiddwa okuddayo mu bakamaabe bamulagire gy'agenda okuddamu okukolera.

Abajulizi ba Orono abamuyamba okukakasa kkooti nti yatta mu butanwa kwaliko ne ssentebe w'e Kazo Central Zone Meddie Mugerwa ng’eno Sserwadda gye yali abeera .

Mugerwa yategeeza nti Sserwadda yali mubbi atigomya Kawempe era baamukuba ava mu bubbi n'agezaako okuggyako Orono emmundu.

Bino byaliwo nga March 24, 2024 mu Kazo Central zooni mu munisipaali y’e Kawempe mu Kampala.