Abalabirizi batuula leero okulonda omusika wa Bp. Luwalira
Oct 04, 2023
LEERO olukiiko lw’Abalabirizi mu Kkanisa ya Uganda lwe lugenda okulonda Omulabirizi w’e Namirembe omuggya agenda okudda mu bigere bya Bp. Wilberforce Kityo Luwalira.

NewVision Reporter
@NewVision
LEERO olukiiko lw’Abalabirizi mu Kkanisa ya Uganda lwe lugenda okulonda Omulabirizi w’e Namirembe omuggya agenda okudda mu bigere bya Bp. Wilberforce Kityo Luwalira.
Abalabirizi 38 abakola obulabirizi obw’enjawulo baatandise okutuuka e Namirembe eggulo (Lwakubiri) era ensonda zaategeezezza Bukedde nti bagenda kulonda omulabirizi w’e Namirembe ne East Busoga (obulabirizi obupya).
Olukiiko lw’Abalabirizi olukulemberwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu lwabadde lulina kutuula Lweza Training and Conference Centre kyokka nti enteekateeka zaakyuseemu.
Okusinziira ku mwogezi w’Ekkanisa ya Uganda Sadiiki Adams, Abalabirizi nga bali ne Ssaalabirizi Kazimba bagenda kukuhhaanira ku kitebe ky’Ekkanisa ya Uganda e
Namirembe mu ‘Fellowship hall’.
“Abalabirizi bonna bagenda kukuhhaanira wano ku kitebe kya pulovinsi nga we bagenda okulondera Omulabirizi wa Namirembe ne East Busoga. Tusuubira nti buli kimu kigenda kutambula bulungi.” Sadiiki bwe yagambye.
Yategeezezza nti Ssaabalabirizi, abalabirizi, cansala w’Obwassaabalabirizi
(Province) n’omuwandiisi w’Ekkanisa ya Uganda be bagenda okukkirizibwa mu kisenge omugenda okulondebwa.
Yayongeddeko nti enteekateeka okwogerako eri bannamawulire ejja kuteekebwawo era
n’agumya nti tewali agenda kukola butabanguko bwonna mu kifo awagenda okulonderwa.
Amannya 2 ge gaayisiddwaawo e Namirembe okuli Can. Moses Banja nga ye ssaabadinkoni w’e Luzira ne Rev. Abraham Muyinda viika wa Lutikko y’e Namirembe.
Namirembe egenda kuba efuna omulabirizi omuddugavu owookutaano ng’adda mu bigere bya Wilberforce Kityo Luwalira.
Ono yaddira Samuel Balagadde Ssekkadde mu bigere.
Ssekkadde yadda mu bigere bya Dunstan Nsubuga ng’omulabirizi omuddugazu eyasooka e Namirembe okuva ku bazungu abaali babutwala.
No Comment