Obwakabaka bukungubagidde abadde ddereeva wa Nnaabagereka okumala emyaka 20

Apr 17, 2025

OBWAKABAKA bukungubagidde omujaasi, Corporal Julius Mukasa Mulyanga, abadde omukuumi era ddereeva wa Maama wa Buganda Nnaabagereka okumala emyaka 20.

NewVision Reporter
@NewVision

Obwakabaka bukungubagidde abadde ddereeva wa Nnaabagereka okumala emyaka 20

OBWAKABAKA bukungubagidde omujaasi, Corporal Julius Mukasa Mulyanga, abadde omukuumi era ddereeva wa Maama wa Buganda Nnaabagereka okumala emyaka 20.

Namwandu Ritah, Baganda Be N'abaana Nga Bakuba Ebiwoobe Oluvannyuma Lw'okulaba Ku Mugenzi.

Namwandu Ritah, Baganda Be N'abaana Nga Bakuba Ebiwoobe Oluvannyuma Lw'okulaba Ku Mugenzi.

Mu kusaba okw'okujjukira ebirungi Mukasa by'akoze okwabadde mu Kkanisa y'Omutukuvua Stephen C/U e Kireka, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abakungu mu Bwakabaka, mu ggye lya UPDF, abooluganda n'emikwano mwe baasinzidde okutendereza emirimu gy'omugenzi Cpl Mukasa.

Mu bubaka Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yatisse Minisita w'enkulaakulaakulana Choltilda Nakate Kikomeko, yatenderezza obukkakkamu n'obwegendereza bw'omugenzi mu buweereza bwe naddala mu bbanga ly'amaze ng'avuga Nnaabagereka.

Naabagereka Sylvia Nagginda Mu Kusaba.

Naabagereka Sylvia Nagginda Mu Kusaba.

Yasaasidde abooluganda lwe, Nnamwandu n'abaana n'asaba Katonda abagumye n'omugenzi amuwummuze mirembe.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagambye nti yanyoleddwa olw'okuviibwako omuweereza ono abadde omuwulize nnyo ate ng'ayagala nnyo omulimu gwe, n'asaasira abooluganda lwe ne baweereza banne.

Abasumba Nga Basabira Namwandu N'abaana Baabwe

Abasumba Nga Basabira Namwandu N'abaana Baabwe

Akulira ekitongole ky'Enkuluze ekitwala amagye agakuuma Kabaka, John Kitenda, yamwogeddeko ng'omuntu abadde omuyiiya nga newankubadde yatandika akola mu byakwerinda mu Bwakabaka ate mangu nnyo yakuguka mu kuvuga emmotoka ate n'abeera mutetenkanya ddala n'abaako enkulaakulana gye yeetusaako n'ab’omu maka ge.

Bakama be mu UPDF, okwabadde akulira abajaasi abakuuma Kabaka, Capt. Christopher Lutwama  n'akulira Abajaasi bonna abakuuma abakulembeze b'ensikirano, Edward Herbert Tahunga baatenderezza obwesigwa n'obuwulize eby'omugenzi, era baakubirizza n'abantu bulijjo okwekebeza emibiri gyabwe newankubadde tebawulira bulwadde.

Capt. Lutwama yasuubizza nti baakugoba ku by'akasiimo eri ffamire mu bwangu era n'ebyokuziika UPDF yabikozeeko ng'enkola y'amagye bw’eri.

 

Okusaba kuno kwakulembeddwa Omusumba w'Obusumba bw'e Kireka, Rev. Dr. Esau Bbosa Kimanje ng'ali wamu n'akulira eby'okusinza mu Kkanisa ya Uganda Rev. Simon Peter Demberyayesu, Omusumba w'e Misindye Rev. Esmond Sserunjogi, n'Omumyuka w'Omusumba w'e Kireka, Rev. James Kalongo.

Oluvannyuma baasabidde Namwandu Ritah Kalyango n'abaana abataano omugenzi be yalese, Katonda abanyweze mu kiseera kino ekizibu. Omugenzi waakuziikibwa ku kyalo Kanywa, mu muluka gw'e Naluzaali mu disitulikiti y'e Masaka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});