Uganda yeeyongedde okutunda emmwaanyi ku katale k’ensi yonna

Oct 23, 2023

ABALIMI b’emmwaanyi bali mu ssente oluvannyuma lw’ekirime kino okwongera okufuna amaanyi ku katale k’ensi yonna.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

ABALIMI b’emmwaanyi bali mu ssente oluvannyuma lw’ekirime kino okwongera okufuna amaanyi ku katale k’ensi yonna.

Omwezi oguwedde (September 2023), Uganda yatunze ensawo z’emmwaanyi 577,073 eza kkiro 60 buli emu ku katale k’ensi yonna nga zaavuddemu obukadde bwa ddoola 94.39.

Mu mwezi gwe gumu kkiro y’emmwaanyi kibooko yagula 4,000/- ate Kase ali ku 7,900/-.

Okusinziira ku lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) eyafulumiziddwa nga October 11, 2023 yalaze nti, obungi bw’emmwaanyi Uganda zeetunda wabweru, bweyongedde nga mu 2022/2023 yatunda ensawo eza kkiro 60 buli emu eziwera 6,140,000 nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 940.36 okuva ku nsawo 5,860,000 mu 2021/2022 ezaavaamu obukadde bwa ddoola 877.66.

Kino kitegeeza nti, emmwaanyi zeeyongera ebitundu 5 ku 100 mu bungi n’ebitundu 7 ku 100 mu muwendo.

Ebitundu 80 ku 100 eby’emmwaanyi zino ezaatwalibwa ebweru, zaatwalibwa kkampuni 10 ku ezo 52 eziri mu mulimu guno.

Ensawo 543,361 zaali za Robusta nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 88.09 ate ensawo 33,712 za Arabica (ezirimwa mu bitundu by’ensozi) nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 6.29 nga zino ziraga okulinnya kwa bitundu 12.76 ku 100 mu bungi n’ebitundu 30.38 ku 100 mu muwendo bw’ogeraageranya omwezi gwe gumu, omwaka oguwedde.

Ugacof (U) Ltd, Olam Uganda Ltd, Ideal Quality Commodities Ltd, Louis Dreyfus Company (U) Ltd, Ibero (U) Ltd, Kyagalanyi Coffee Ltd, Kawacom (U)Ltd,Touton Uganda Ltd, Export Trading Company (U) Ltd ne Besmark Coffee Company Ltd ze zaasinga okutwala emmwaanyi wabweru.

Yitale ye yasinga okugula emmwaanyi za Uganda n’eddirirwa Bugirimaani, Sudan, India ne Algeria.

Amawanga ga Afirika baaguze ensawo z’emmwaanyi 104,844 nga zaakulembeddwa Sudan, Morocco, Algeria, South Africa, Egypt ne Kenya.

Akatale k’emmwaanyi ak’ensi yonna kasuubirwa okutuuka ku nsawo obukadde 174.3 mu 2023/2024 olw’amakungula okuva e Brazil, Vietnam agasuubirwa okulinnya.

Uganda esuubirwa okutunda ensawo z’emmwaanyi 500,000 mu mwezi guno ogwa October. Amakungula amangi gasuubirwa mu bitundu by’e Masaka n’obukiikaddyo n’obuvanjuba bwa Uganda ebisuubirwa okutandika okukungula.

Bino we byajjidde nga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga atongozza kaweefube w'okukunga abantu okunywa kaawa okuva mu mmwaanyi olw’emigaso enkumi egiri mu kumunywa.

Kaweefube ono yamutongoza nga October 10, 2023 ku kisaawe e Lwadda mu kabuga k’e Matugga mu ggombolola Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo n’agamba nti, agendereddwaamu okukunga abantu okunywa kaawa okulaba ng'abalimi beeyongera okufuna ensimbi mu mmwaanyi ze balima.

“Abantu ba Uganda tetusaana kukudaalirwa olw’okunywa amajaani. Bwe twali tukula nga bw’oyogera ekintu ekitavuddeyo bulungi ng’oli agamba nti, ago oyogera majaani meereere.

Kiki ekibanywesa amajaani ameereere nga mmwe mulima emmwaanyi omuva kaawa,” Mayiga bwe yakunze abantu.

Mayiga era yabuulidde abantu emigaso 10 egiva mu kunywa kaawa ekimufuula ow'omugaso eri omuntu.

“Okunywa kaawa kulimu emigaso mingi ate si biboozi wabula twesigamye ku ssaayansi: Ayongera obungi bw’amaanyi, akendeeza ku bulabe bw’okufuna ssukaali, ayamba ku bwongo n’omutwe omulamu, ayambako okukendeeza omugejjo n’okugwewala, akendeeza obulabe obw’okwennyamira n’okweraliikirira,” Mayiga bwe yategeezezza.

Emigaso emirala egiri mu kunywa kaawa kuliko okuba nti, atangira okufuna obuzibu ku kibumba, ayamba ku mutima okuba omulamu, ayongeza obuwangaazi, atumbula obusobozi bw’omuzannyi ate era ayamba omuntu okubeera omusanyufu buli kadde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});