Museveni atadde omukono ku mateeka agaggyewo ebitongole 9

Dec 19, 2024

PULEZIDENTI Museveni atadde omukono ku mateeka mwenda agaggyawo ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo ebibadde bikola emirimu egifaanana egya minisitule ez’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni atadde omukono ku mateeka mwenda agaggyawo ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo ebibadde bikola emirimu egifaanana egya minisitule ez’enjawulo.
Amateeka gano kuliko ekya Uganda National Roads Authority (Repeal) Act, 2024, ne Uganda Road Refund (Amendment) Act, 2024 ebibadde bivunaanyizibwa ku nguudo. Palamenti yayisa etteeka eryaggyawo ebitongole ebyo nga November 6, era byazziddwa mu minisitule y’ebyentambula.
Amalala kuliko etteeka eriggyawo ekitongole kya Dairy Development Authority, ekya NAADS ekibadde kitumbula ebyobulimi n’ekitumbula ppamba ekya Cotton Development Authority.
Ekitongole kya Centre for Arbitration and Dispute Resolution ekibadde kivunaanyizibwa okuteewulula enkaayana kyateereddwa mu minisitule y’ebyamateeka n’ekigendererwa ky’okukendeeza ssente z’obuweereza.
Museveni era yaggyewo ekitongole kya Higher Education Students’ Financing (Amendment) Bill, 2024. Emirimu gy’ekitongole kino gyateereddwa mu minisitule y’ebyenjigiriza.
Ekitongole kya National Commission for UNESCO kyateereddwa mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.
Ekitongole kya NITA-U kyatwalibwa mu minisitule y’ebyempuliziganya, ebya tekinologiya n’okulung’amya eggwanga. Kyokka kino kijja kutandika oluvannyuma lw’emyaka esatu. Ekyalemesezza okuvaawo mu kiseera kino kwe kuba nga kisangiddwa n’endagaano ez’enjawulo ze balina okutuukiriza ezirimu ssente ennyingi.
Wabula etteeka ly’emmwaanyi erya Coffee Amendment Bill eryaliko okusika omuguwa okw’amaanyi naddala ku kuggyawo ekitongole kya UCDA, Pulezidenti tannalissaako mukono wadde nga Palamenti yaliyisa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});