Obwakabaka bw'e Ghana butongozza enkolagana yaabwo n'Obwabuganda mu kutumbula ebyennono

Oct 25, 2023

Bino byabadedwo ku mukolo  kwe baaweredde  omulangira Wasajja Kiwanuka, omulangirizi omukulu ow'ebyobuwangwa n’ennono mu Buganda ekitibwa kyobwa Chief Kechitowura I

NewVision Reporter
@NewVision

OBWAKABAKA bwa Kong mu ggwanga lya Ghana bwatongozza enkolagana yaabwo n'olulyo Olulangira olwa wano mu Bwakabaka bwa Buganda okusobola okutumbula  ebyobuwangwa n’ennono eby’omuddugavu wamu n'enkulaakulana endala nnyingi omuli okutumbula n'ekirime ky’emmwaanyi.

Abalangira N'abambejja Mu Kifaananyi Eky'awamu N'ababaka Abatuula Ku Lukiiko Lwa Palamenti Mu Ghana.

Abalangira N'abambejja Mu Kifaananyi Eky'awamu N'ababaka Abatuula Ku Lukiiko Lwa Palamenti Mu Ghana.

Bino byabadedwo ku mukolo  kwe baaweredde  omulangira Wasajja Kiwanuka, omulangirizi omukulu ow'ebyobuwangwa n’ennono mu Buganda ekitibwa kyobwa Chief Kechitowura I era n'abalangira abaamuwerekeddeko baaweereddwa obwa ‘Sub Chief’ mu ggwanga lya Ghana .

Omukolo gwakoleddwa Kabaka waabwe ow’obukulembeze obwa Kong Kongwura, Seidi Jinkurge nga gwetabiddwako Abalangira okwabadde  Omulangira Goloba , Omulangira Fredrick walugembe, Omumbejja Florence Nakayenga wamu ne Phiona Kiweweesi Nabukenya nga bano baayaniriziddwa mu bitiibwa e Ghana.

Omulangira Wasajja baamukozeeko emikolo egy’enjawulo omuli, okumwambaza ebyambalo n’okumukwasa ebintu ebikozesebwa mu kulamula mu bukulembeze buno.

Wasajja  yategeezezza nga ekitiibwa kino ekyamuweereddwa wamu ne Balangira banne nga Obwakabaka bwa Buganda n’olulyo Olulangira we bagenda okukiganyulwamu ennyo kubanga kyakwongera okubayambako mu kugaziya ebyobuwangwa n'ennono ebyabwe mu mawanga amalala nga bakoppa ebikolebwa mu Bwakabaka bwabwe babireete kuno.

 

Yayongeddeko nti essira baakuliteeka ku zimu ku  pulojekiti nga okuzimba ettendekero mu ggwanga lya Ghana saako n'okubunyisa enkola y'emmwanyi terimba mu bwakabaka buno.

Yakinogaanyizza era nti baakuleetawo enkolagana esooka wakati w’Obwakabaka  bwa Buganda n'obwa Ghana ssaako okusitula ekitiibwa ky’olulyo Olulangira era nga ekitiibwa kino kyakwanjulibwa Obwakabaaka mu bwangu.

Omulangira Golooba Wilberforce, omuyima wa Bavubuka mu lulyo Olulangira yategeezezza nti baakuganyulwa mu bintu bye balabye ku bugenyi bwe baabaddeko kubanga buli ggwanga libeera n'ebyalyo era nti bagenda kusobola okukoppayo ebimu ku bye baalabyeyo  babireete kuno biyambeko olulyo  Olulangira okuyitimuka mu Buganda.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});