Amawulire

Abaayingiridde omutuuze n'obwambe ne bamubbako essimu ne andaweya bawunya Luzira

ABAVUBUKA bana abagambibwa okuyingirira omutuuze n'obwambe ssaako amayinja ne bamubbako obuwale bwe obw'omunda (underwear) n'essimu basindikiddwa ku limanda e Luzira ku gw'obwa kkondo.

Abaayingiridde omutuuze n'obwambe ne bamubbako essimu ne andaweya bawunya Luzira
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision
ABAVUBUKA bana abagambibwa okuyingirira omutuuze n'obwambe ssaako amayinja ne bamubbako obuwale bwe obw'omunda (underwear) n'essimu basindikiddwa ku limanda e Luzira ku gw'obwa kkondo.
 
Steven Ssengooba 18, abeera wa Bakuli mu Kampala, Brian Lutaaya 20, mutuuze w'e Makindye, Derrick Mususwa ne Steven Kasasa bonna batuuze mu Kakajjo zzooni mu Kisenyi be basimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n'abasomera ogw'okubba nga bakozesa ebissi n'eryanyi.
 
Kigambibwa nti mu kiro kya nga October 25, 2023 ku Luguudo lwa Lubaga ku ssaawa ttaano, bano n'abalala abatannakwatibwa baayingirira Ahmed Muhammad Jama ne bamunyagako essimu ekika kya Sumsang S8+, jaketi, empale z'eby'emizannyo, obuwale bw'omunda (underwear) n'essente enkalu emitwalo mwenda nga byonna bibalirirwamu 1,585,000 era nga mu bunyanzi buno baakozesa ebissi okwali obwambe n'amayinja.
 
Oluvannyuma omuyiggo gwakolebwa Mususwa ne Kasasa baakwatibwa mu Kisenyi abaabatuusa ku balala era mu nnyumba ya Ssengooba essimu mwe yasangibwa ne baggulwako gwa kkondo ku Poliisi ya Kampalamukadde ku ffayiro CRB: 1992/2023.
 
Omulamuzi Adams yabategeezezza nti omusango ogubavunaanibwa gwa naggomola kkooti ye terina buyinza buguwulira n'abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga December 19, 2023 lwe banaddamu okusomerwa ng'oludda oluwaabi bwe lukungaanya obujulizi obubasindika mu kkooti enkulu.