Sipiika agobye bakkansala ng'abalumiriza okusaba abakozi ssente n'okutambuza eng'ambo
Nov 22, 2023
Sipiika wa disitulikiti y'e Kayunga Bulinsoni Saleh agobye bakkansala abakeera ku kiteebe kya disitulikiti okutaayaya n'abalagira babeere mu ggombolola ez’enjawulo bawulirize ebizibu ebiruma abantu

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Sipiika wa disitulikiti y'e Kayunga Bulinsoni Saleh agobye bakkansala abakeera ku kiteebe kya disitulikiti okutaayaya n'abalagira babeere mu ggombolola ez’enjawulo bawulirize ebizibu ebiruma abantu ababalonda kubanga kizuuse nga abamu bakeerayo kusabiriza ssente n'okubungeesa eng'ambo.
Bakkansala Nga Bateesa Mu Lukiiko.
Agambye nti kkansala ateekeddwa kujja ku disitulikiti nga waliwo olukiiko oba ng’alina ensonga wabula si kya buli lunaku nga abamu bwe bakola.
Bulinsoni yagambye nti abamu ku bakkansala abakeera ku disitulikiti babeera mu kusabiriza ssente n'okulingiriza abakulu.
Abawadde amagezi nti mu kifo ky’okutambuza eng’ambo beenyigire mu mirimu egivaamu ssente bakyuse ku mbeera y’obulamu bwabwe kubanga nabo be baleega ssente bakola nkole.
Bo bakkansala bagamba nti buvunaanyizibwa bwabwe okulondoola abakozi bye bakola era eky’okubakugira kibalowoozesa nti waliwo bye bakukusa.
No Comment