Amawulire

Abagambibwa okupanga olukwe lw’okukwata abayizi obutambi bakwatiddwa

POLIISI ekutte akamu ku kabinja akagambibwa okukozesa omutimbagano “social media” nga bano beegatta ne bametulooni ku ssomero lya Cambridge Junior School e Matugga mu Nansana munisipaali ne bakabawaza abayizi nga bwe babakwata ku butambi n’ekigendererwa eky’okubaggyamu ssente.

Wamala ne Nalubega abaakwatiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Musasi Waffe

POLIISI ekutte akamu ku kabinja akagambibwa okukozesa omutimbagano “social media” nga bano beegatta ne bametulooni ku ssomero lya Cambridge Junior School e Matugga mu Nansana munisipaali ne bakabawaza abayizi nga bwe babakwata ku butambi n’ekigendererwa eky’okubaggyamu ssente.

Abakwatiddwa kuliko: Angella Nalubega ne Moses Wamala abatuuze b’e Lungujja mu Kampala. Bano beegasse ku ba metulooni abasooka okukwatibwa okuli; Hellen Nanfuma ne Zeresi Kadondi abakuumibwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Kigambibwa nti Wamala ne Nalubega baakozesa omukutu gwabwe ogwa “Uganda Eyenkya” ssaako n’ogwa “TV10” ne boogera kalebule ku ssomero lino ng’ abayizi bwe baali mu kukola ebikolwa eby’obukaba kyokka ng’abasomesa bafuuse kyesirikkidde ate ng’ensonga eno egenda ewanvuwa.

Kino kyawalirizza poliisi okuyingira mu nsonga zino n’etandika okunoonyerezza okutuuka bwe baakutte era Nalubega ne Wamala abaasangiddwa ku ofiisi zaabwe eza TV 10 e Lungujja.

METULOONI NANFUMA YAKOZE SITAATIMENTI

Mu sitatimenti ya poliisi, Nanfuma gye yakoze ku CPS mu Kampala, yagambye nti Nalubega baludde ebbanga nga bamanyiganye ssaako n’okumanya n’emirimu gy’akola egya social media, kyokka bwe yamutegeeza nga bwaliko essomero gy’akola nga metulooni ekyaddako kwe kumubuulira biki bye babeera bakola asobole okufuna ssente.

Kigambibwa nti wakati nga Nanfuma tannakwata katambi, Nalubega yabuulirako ku banne bakola nabo, ne bongera okukkaatirizza ku kiki Nanfuma kyabeera akola basobole okufuna ssente.

Oluvannyuma lwa Nanfuma okukwata akatambi, teyasula nako yasalawo okukaweereza Nalubega era enkeera waayo nga bakakutte baalumba dayirekita w’essomero lino Paul Ssebunya ne basaba obukadde munaana nga bali ne poliisi y’e Kawempe era kigambibwa nti olw’engeri gye batiisatiisaamu dayirekita yasalawo okubawa 4,100,000} ne basigala nga babanja balansi.

Oluvannyuma lwa bino byonna  kigambibwa nti Metulooni Nanfuma yatandika okukubira Nalubega amasimu ag’okumuukumu nga bwamutegeeza nga bwatidde kuba bagenda kumusiba kuba gwe basinga okugamba nti ye yakwata akatambi. Kigambibwa nti binoNalubega yabiyita bya lubalaato era n’amugumya nti tewali ayinza kumukwatako era abeere mugumu “ Bino byabadde mu maloboozi Nalubega ge yayogera ne Nanfuma ku whatsap”

Poliisi bwe yakutte Nalubega ne Wamala baasoose kulowooza nti byakusaaga era bbo babadde tebamanyi nti metulooni yakwatiddwa kyokka beekanze nnyo okubategeeza nga metulooni bwali munda mu kaduukulu ka poliisi era Nalubega poliisi yasoose kumuggyako sitatimenti nga tannayingizibwa munda okwegatta ne metulooni.

Wabula ensonda okuva ku poliisi ya CPS ziraga nti ekyanoonya abantu abalala babiri okuli; Divine Mutukuvu ssaako ne Dean Lubowa Ssaava aba TV 10.

 Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okunoonyerezza ku nsonga zino kukyagendera ddala mu maaso ng’ abakwatiddwa baakutwalibwa mu kkooti era nga bakyanoonya abantu abalala.

Abakwate bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi ye CPS mu Kampala ng’ okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
okupanga
olukwe
okukwata
abayizi
butambi