Amawulire

Abazadde basabiddwa okus0mesa abaana eby'emikono bataase ku bbulwa ly'emirrimu

OMUKUNGU okuva mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kutendeka eby’emikono (DIT) Dr. Ruth Aisha Biyinzika Kasolo, atenderezza ettendekero lya Jimmy Ssekasi ng’erimu ku gavaamu abakugu mu by’okufumba n’asaba abayizi abatikkidwa okutwala obukugu obwo mu maaso.

Abayizi abatikkiddwa mu kufumba
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision
OMUKUNGU okuva mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kutendeka eby’emikono (DIT) Dr. Ruth Aisha Biyinzika Kasolo, atenderezza ettendekero lya Jimmy Ssekasi ng’erimu ku gavaamu abakugu mu by’okufumba n’asaba abayizi abatikkidwa okutwala obukugu obwo mu maaso.
 
Bino yabyogeredde ku Sharing Hall e Nsambya bwe yabadde omugenyi omukulu mu kutikkira abayizi ba Jimmy Ssekasi Business Institute abasoba mu 100 mu masomo ag'enjawulo okwabadde n'okufumba.
 
Yakubirizza abazadde okusomesa abaana mu by’emikono kubanga omuntu alina ky’amanyi talemererwa mu nsi n’ategeeza nti kati ne Gavumenti ebisimbyeko essira okukyusa eggwanga.
 
Biyinzika yagambye abatikiddwa okubeera abesimbu, abesigwa, abeetowaze, ate n’okubeera abakozi abasola okugonjoola ebizibu.
 
Yasabye abazadde ku baana abalenzi nti ensangi zino babasuuliridde nnyo essira ne baliteeka ku mwana omuwala ekiresseewo omuwaatwa kyokka ng’omusajja ateekateekeddwa y’azimba amaka n’okugayimirizaawo n’abasaba nabo obutabasuulirira.
Abatikiddwa nga baweebwa amabaluwa gaabwe

Abatikiddwa nga baweebwa amabaluwa gaabwe

 
Cansala w’ettendekero lino Prof. Edward Bbaale yakuutidde abatikkiddwa nti eno ebeere entandikwa y’olugendo lw’obulamu bwabwe kuba ettendereko libawadde amagezi, obumanyirivu n’obukugu okutandikawo emirimu ekisobola okukola ng’akabonero k’obuwanguzi mu bulamu.
 
Yakubirizza abayizi okugumira enkyukakyuka mu bulamu ate n’okubeera abayiiya singa baakumalako n’ensi ejjudde ebisoomooza.
 
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku by'okwerinda n'ebyobufuzi George Mutabaazi, yakalaatidde abavubuka okwewala okunywa ebiragalalagala ebiyinza okubatabula emitwe ne bava ku mulamwa.
 
Yasabye abavubuka okwewala eby'obufuzi essira baliteeke ku bye basomye singa baakutuuka ku buwanguzi.
 
Omutandisi wa Jimmy Ssekasi Owek. David Kyewalabye Male yasabye abazadde okwongera essira mu kusomesa abayizi naddala mu masomo gy'obwoleke ekiyinza okununula eggwanga mu nsonga y'ebbula y'emirimu.