Amawulire

Omukazi abadde akuumira omusota ku muzigo ng'aguyita 'omwana' agusudde n'asasamaza ekyalo

Bino bibadde mu Kayunga Central zzooni mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga. Abantu baayiise okujja okulaba ogubadde, ekyawalirizza poliisi okubiyingiramu.

Omukazi abadde akuumira omusota ku muzigo ng'aguyita 'omwana' agusudde n'asasamaza ekyalo
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Omukazi abadde akuuma omusota mu muzigo ng’aguyita omwana we, agutadde mu bookisi n’agusuulira abatuuze. Abatuuze nabo tebamuganyizza ne baguyigga ppaka lwe bamufunye ne bagumuggyissaawo agutwale.

Abantu Nga Basasamadde Okulaba Ku Musota.

Abantu Nga Basasamadde Okulaba Ku Musota.

Bino bibadde mu Kayunga Central zzooni mu Kayunga Town Council mu disitulikiti y’e Kayunga. Abantu baayiise okujja okulaba ogubadde, ekyawalirizza poliisi okubiyingiramu.

Abaserikale nga bakulembeddwa OC wa Kayunga Town council Issa Katongole batuuse era abatuuze ne babategeeza nti omukazi yabuzeewo ng’asudde omusota ye gwe yayise omulongo ow’okubiri.

Agnes Nakandi, atunda amatooke mu tawuni y’e Kayunga atuuse ng’ali n’omuwala ow’emyaka 12 gwe bagambye nti ye Nakato era nti ye yazaalibwa n’omusota ne bagenda awabadde bookisi nga bakutte olugoye olweru ne baguggyawo.

Omusota Nga Guli Mu Bookisi.

Omusota Nga Guli Mu Bookisi.

Batambudde mukungujjo ppaka mu mmotoka ekika kya Noah ne bagenda. Oluvannyuma Nakandi tumukubidde essimu n’agamba nti omusota ogwo mwana we nga ye mulongo ow’okubiri wabula yagututte ewaabwe wa bba e Kalagi gye yazaala abaana kubanga bba yafa kyokka bwe yatuuse eyo ab’ekika baagumugobezza n’agulekayo ku mpaka era ab’ekika be baagusitudde ne bagukomyawo e Kayunga ne bagusuulawo.

Omuzigo Omuli Olutimbe Nakandi Bw'abadde Asula.

Omuzigo Omuli Olutimbe Nakandi Bw'abadde Asula.

Nakandi awakanyizza ebigambibwa nti abadde aswala n’agamba nti abaana be yabeetikka mu lubuto emyezi mwenda n’agamba nti ab’ekika kya aana abaasudde omusota baakikoze mu butamanya wabula aguzzizzaayo era ne bagukkiriza.

Katongole agambye nti kikyamu abatuuze okusuula ebintu ebijagalaza abantu kubanga kiyinza okuvaamu okumenya amateeka.

Tags:
Mukazi
Musota
Muzigo
Kusasamaza
Mwana