Ababaka bakukulumye ku nsigo Gav't z'ewa abalimi : 'Za bbeeyi kali, tezibala, ate zoonoona ettaka'

Dec 04, 2023

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola eby’obulimi beerayiridde okulwanyisa enteekateeka ya gavumenti ey’okuggya obuvunaanyizibwa ku balimi okweterekera ensigo z’ebirime.

NewVision Reporter
@NewVision

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola eby’obulimi beerayiridde okulwanyisa enteekateeka ya gavumenti ey’okuggya obuvunaanyizibwa ku balimi okweterekera ensigo z’ebirime.

Ababaka ku ka kiiko kano akakubiriziddwa omumyuka wa ssentebe waako Agness Awuma Linda bwe babadde basisinkanye ekitongole ky’obwannakyewa ekya SEATINI (Kikola ku busuubuzi obwomwenkanonkano, eby’enfuna mu Uganda n’ensi yonna) okukubaganya ebiriowoozo ku ddembe ly’abalimi n'ensigo zaabwe bagambye nti kikafuuwe okwesigama ku nsigo ezigabibwa gavumenti kubanga za bbeeyi, tezibala, zonoona ettaka ate ziviiriddeko abalimi okufiirizibwa.

Awuma yagambye nti kyannaku okulaba nga Bannayuganda ebitundu 80 ku buli kikumi bayimiriddewo ku bulimi kyokka agamu ku mateeka agabafuga ku nsonga ye nsigo gabalwanyiusa bulwanyisa.

Sylvia Vicky (Mukazi/Nabilatuk) yeevuma okukkiriza ensingo za Gavumenti ez’omuwemba mu kitundu kye kubanga okuva abalimi lwe baazissa mu ttaka kati emyezi kkumi n'ebiri tebalabanga wadde ekikolo ekifubuttuka mu ttaka.

Huzaima Ssekalema, pulogulaama akulira eby’obulimi n'enkulaakulana mu kitongole kya SEATINI yasinzidde mu kakiiko luno n’agamba nti  gavumenti okuggyako omulimi eddembe ku nsigo egenda kuleetawo enjala mu ggwanga.

Ekisanja ky’akakiiko ak’oku ntikko akatwala minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi  okuba nga kyaggwaako akakiiko ne katazzibwa buggya so nga kavunaanyizibwa ku kuwabula Minisita mu kuleeta amateeka agakuuma omulimi n’ensingo yagambye nti kiwadde gavumenti omwagaanya okukolagana n’abantu abagiwadde ensigo ezigivumaganyizza.

Yawanjagidde abantu  bonna okuwakanya ekikolwa kya gavumenti okuggya ensigo mu bantu ssekinnoomu ne kampuni ezimu wabula bagiguze ekirowoozo ky’abalimi okusigala  n’obuyinza obwenkomeredde ku nsigo zaabwe.

Amateeka agateekebwawo gavumenti ku nsigo okuli National seed policy ,2018, Seeds and Plant Act, 2006 , Seed and  Plant Bill , 2019 yagambye nti getaaga kuddamu kubaga  omulimi gamuggyako obwannanyini ku nsigo kyagamba nti kikyamu.

Awuma yagambye nti ng’akakiiko baakuwabula gavumenti eddemu yetegereze amateeka ku nsigo z’ebirime  n’akakiiko akavunaanyizibwa ku kuwabula minisita w’ebyobulimi kaddemu kateekebwewo.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});