Genderera bino ku yingini y'emmotoka ogule eteekukaluubirire

Dec 05, 2023

ABANTU bangi abagula emmotoka buli kaseera naye abasinga beegomba ndabika ya mmotoka ne beerabira okumanya ku yingini ate nga kye kintu ekisinga obukulu.

By Scovia Babirye
Journalist @New Vision

Abantu bangi abagula emmotoka buli kaseera naye abasinga beegomba ndabika ya mmotoka ne beerabira okumanya ku yingini ate nga kye kintu ekisinga obukulu.

Abangi bazigula olwendabika wabula ne bakaluubirirwa mu kugirabirira ate n’okubeera ng’efa buli kiseera.

Omusuubuzi w’emmotoka Tonny Muwonge Katayira agamba nti emmotoka ziba ne yingini za njawulo okugeza;

1. Emmotoka ekika kya Wish; eno erina ebika bya yingini bibiri (2); VVTI ebeeramu CC 1800 ekyo ekika kirungi kuba ebeera enywa bulungi ate nyangu ya kukanika ate teboola mafuta kasita gatabeeramu bintu birala, yingini eno mpangaazi ne sipeeya waayo alabika. Wish erina yingini endala ebeera eya VVTI D4. Yingini eno enywa amafuta agawera, eboola amafuta bw’ogossaamu g’etayagala ng’etandika okupipira.

2. Emmotoka ekika kya fielder; erimu ebika bya yingini bibiri, entono n’ennene naye byombi birungi, erina CC1800 ne CC1500 kyenkana zeezimu naye ekizaawula nywa ya mafuta n’okudduka emisinde, CC1800 enywa amafuta mangi naye ate ku kkubo etambula eyanguwa ate CC1500 enywa kitono. Emmotoka bw’ogisanga ng’erina yingini entono n’ennene, ennene ebeera mpangaazi kuba erwawo okucamuka.

Emmotoka ekika kya Vitz,eno erina yingini ya CC1000 ne CC1300 zonna zinywa kitono naye CC1300 esingako okunywa naye nga mpangaazi ate erwawo okucamuka ne sipeeya waayo wa layisi, CC 1000 tenywa mafuta mangi naye tedduka, bwebagitikka ennyo oba n’ogivuga olugendo oluwanvu ecamuka mangu.

 

OBULAMU BWA YINGINI
Francis Mugenyi makanika w’emmotoka okuva mu JSK Motor Hub agamba nti waliwo ebika bya yingini bibiri (2) okuli yingini za Petrol ne yingini za Diesel;

Yingini za Petrol; Bw’oba ogula emmotoka osooka n’oggulawo boneti n’okebera ekipimo kya woyiro.

Bikkula radiator okebere amazzi ne coolant. 

Kebera pulaaga oba zeetaaga okukyusibwa

Kebera valuvu

Weekenneenya oba emmotoka terina watonnya woyiro,

Genderera omukka emmotoka gwefulumya.

Makanika alina ‘’okulesingamu’’ emmotoka ogirinnyako okuwulra pisitoni bwezitambula oba yingini tewalala. Okuwalala kitegeeza nti wansi ‘’piece bearing’’ eba yeeridde nga safuta erya kyuma kwekulekaana.

Olumu okuwalala kujja ng’oluddewo okukola service oba ng’ogivuze n’eggweeramu ddala woyiro ebyuma nga byekoona ne bikola okulekaana oba okuwalala.

Okukebera faani oba ziteekako, okwata ku ‘’horse pips’’ oba tebika nnyo naye bino byonna byetaaga makanika omukugu okubikebera. Olina okusooka n’oggyamu ddiipu sitiiki okulaba oba kompuleesa tatoloka najja wansi mu sampo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});