Omusumba Mukasa abuuliridde abafumbo ku mukenenya

Dec 06, 2023

OMUSUMBA w"essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa awabudde abafumbo okwewala obwenzi kuba kivaako okukuumagana nga bwe baalagaana nga bagattibwa olw"okwewala ebizibu ebiyinza okubasomooza  ne bittattana ebiseera byabwe eby"omumaaso.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUMBA w"essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa awabudde abafumbo okwewala obwenzi kuba kivaako okukuumagana nga bwe baalagaana nga bagattibwa olw"okwewala ebizibu ebiyinza okubasomooza  ne bittattana ebiseera byabwe eby"omumaaso.
 
Asinzidde ku kigo e Nattyoole ku lunaku lw"abafumbo mu ssaza lino n"agamba nti kikwasa ennaku abantu abaagattibwa ne balayira okubeera obumu nga balamu tteke ate ekiseera okuyitawo ne bakwatibwa mukenenya oba okwawukana.
 
Omusumba Mukasa asabye abafumbo okujjawo emiwaatwa egivaako obutabanguko mu maka, okukola ennyo okulwanyisa obwavu, okusomanga essaala n"okukuliza abaana mumpisa n" eddiini.
 
Abafumbo bazzeemu okukuba ebiragaano by"okubeera obumu okutuusa okufa lwe kulibaawukanya.
Ends
 
Attachment pics, abafumbo nga batona mu Mmisa
 
Omusumba Mukasa n"abamubku bakukembeze b" abafumbo mu ssazaly
Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});