Among agaanye ababaka okukubaganya ebirowooza ku mmaali y'Obusiraamu etundibwa

Dec 06, 2023

Wiiki ewedde, wabaddewo ebiyiting’ana mu mawulire nti ekitebe ky’Obusiiramu ekisangibwa ku Old Kampala nga kwe kutudde n’omuzikiti gwa Gadhafi bitundibwa ku nnyondo olw’ebbanja lya buwumbi 19.

By Edith Namayanja
Journalist @New Vision

Sipiika wa palamenti Anita Among agaanye ababaka okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’okutunda ekitebe ky’Obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council  ku nnyondo n’ebyobugagga mu bitundu ebirala.

Wiiki ewedde, wabaddewo ebiyiting’ana mu mawulire nti ekitebe ky’Obusiiramu ekisangibwa ku Old Kampala nga kwe kutudde n’omuzikiti gwa Gadhafi bitundibwa ku nnyondo olw’ebbanja lya buwumbi 19.

Abamu Ku Babaka Ba Palamenti Bwe Baabadde Mu Lutuula.

Abamu Ku Babaka Ba Palamenti Bwe Baabadde Mu Lutuula.

Kino kyavaako Abasiraamu bangi okutabuka n’abamu ne batuuka n’okuyoza ku mmunye mu bulumi obungi nga n’ekibiina ekitaba balooya Abasiramu kyavaako ne kiteekawo akakiiko okunoonyereza ku nsonga zino.

Ebbanja lino lisibuka ku ttaka ly’Obusiraamu ery’e Ssembabule eribalirwako Yiika 517, erigambibwa okutundibwa eri omusuubuzi Justus Kyabahwa wabula nga yagenda okuligula nga lyagabibwako liizi ya myaka 15 eri kkampauni ya Enterprise Handling Services Ltd okuva mu 2013 – 2028.

Kino kitegeeza  nti omusubuuzi Kyabahwa yali tasobola kulikozesa kwe kusaba bamuddize obuwumbi bwe 3 n’ekitundu bwe yaligula, kye bataakola, n’asalawo okuddukira ku kkooti era ensimbi zino kwe kuzaala amagoba okutuuka ku buwumbi 19 ze baateekeddwa okusasula oba ekifo kitundibwe omusubuuzi Kyabahwa asobole okufuna ensimbi ze.

 

Omubaka wa munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa yadde olw’okutanulwa kwalimu nga Omusiraamu, ensonga ajireese mu palamenti ng’ayagala okumanya ensonga eno gavumenti ky’eyogerako.

Wabula, omubaka wa Mawokota South, Yusuf Nsibambi abawabudde nti ensonga eno engeri gy’eri mu kkooti, teteekeddwa kukubaganyizibwako birowoozo.

Basalirwa ayongedde okutangaaza nti omuzikiti gwa Kampalamukadde tegukoma kubeera kitebe kya Busiraamu kyokk wabula kifo kya bulambuzi eri abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo era eggwanga lyetaaga okumanya oba gavumenti erina ky’ekozeewo oba esazeewo kutunula butunuzi ng’ekifo kino kitwalibwa bwe kityo.

Amyuka Katikkiro wa Uganda ow’okusatu Rukia Nakadaama akakasizza nti gavumenti eri wamu n’Abayisiraamu era mu kiseera kino bali ku kaweefube waakufuna obuwumbi 2 obw’okuddaabiriza omuzikiti guno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});