Amawulire

Bukedde egenze ku ttaka ly’e Ssembabule Mubajje lye yatunda

BUKEDDE agenze ku ttaka ly’e Ssembabule Mufti Shaban Mubajje lye yaguza Justus Kyabahwa n’akizuula nga kwali kuzimbiddwako omuzikiti n’essomero ne bimenyebwa.

Hajji Yusufu Twaha Bukenya, omuwandiisi w’olukiiko olunoonyereza ku nsonga z’ettaka lino n’Abasiraamu abalala ku ttaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BUKEDDE agenze ku ttaka ly’e Ssembabule Mufti Shaban Mubajje lye yaguza Justus Kyabahwa n’akizuula nga kwali kuzimbiddwako omuzikiti n’essomero ne bimenyebwa.
Hajji Yusufu Twaha Bukenya ow’e Lwemiyaga era omuwandiisi w’olukiiko ab’e Ssembabule lwe bassaawo okutaasa ettaka lino ng’ali n’abatuuze baalambuzza
Bukedde ettaka lino erisangibwa ku kyalo Bukiragi mu ggombolola y’e Bulongo.
Ettaka lino erisangibwa ku LRV 3693 Folio 12, Ranch No 31A mu disitulikiti y’e Ssembabule liriko obunene bwa hectare 518 nga ze mailo bbiri.
Eyali Pulezidenti wa Uganda, Idi Amin Dada ettaka lino yali yaliwa Abasiraamu mu myaka gya 1970 era yawa Abakatoliki n’Abakristaayo. Okunoonyereza Bukedde kwe yakoze kulaga nti Abakatolikiti, Amin yabawa ettaka erya Ranch No 1 wansi wa Masaka Catholic Diocese ate Abakristaayo baafuna Ranch No 37 wansi wa West Buganda Diocese
EBIRI KU TTAKA
Ettaka lino lyasangiddwa nga lyonna lisibeko sehhenge okulyetooloola nga tekuli muntu n’omu.
Munda olengera nte n’abalaalo naye nga tewali muntu akkirizibwa wadde okuyimirira okumpi era obwedda balambula mu bubba. “Bwoba oyagala emirembe tobeera kumpi n’ettaka eryo.
Ndabye abantu abakubiddwa emiggo ku ttaka eryo era nnannyini lyo alabika munene kuba olumu tulabako abakuumaddembe nga balawuna,” omu ku batuuze abataayagadde kumwatuukiriza mannya bwe yategeezezza.
Bukenya yagambye nti ettaka lino lyaweebwa Abasiraamu eyali Pulezidenti Idd Amin basobole okwekulaakulanya era nga yawa n’eddiini endala.
Okusooka lyali liwerako mailo 5, kyokka abantu baagenda balyezza okutuusa lwe waasigalawo mailo bbiri. Okumala ebbanga ddene abantu baali bapangisa ettaka lino ne balundirako ente.
Kyokka ng’Abasiraamu b’ekitundu beekolamu omulimu be bazimbako essomero n’omuzikiti bisobole okutumbula Obusiraamu mu Uganda.
“Kyokka bwe baatandikaebyokugaba liizi ku ttaka lino abamu kye twawakanya, twalabiraawo ng’omuzikiti n’essomero nga babimenya,” Hajji Bukenya bwe yagambye. Wadde nga baagezaako
okwekubira enduulu mu ofiisi eziwerako kyokka baabulwa ababayamba era bwebatyo ettaka ne ligabwako liizi. Baba bakyali awoUMSC baliddemu ezamangu
balitunze. “Kyokka tukyalina essuubi nti ettaka lino lijja kutuddira olunaku lumu ng’Abasiraamu. Kyokka tetwagala ba UMSC kuddamu kutuyingira kuba  tetukyabalinamu bwesige,” Badru Mwanje ow’e Ssembabule bwe yategeezezza.
ENGERI ETTAKA LINO GYE LYAVAAKO OBUZIBU
Endagaano yakolebwa nga June 24, 2020 Mufti Shaban Ramathan  Mubajje, eyali Ssaabawandiisi Ramathan Mugalu ne Abdul Kadir Balonde (mugenzi) eyali ssentebe w’olukiiko olufuzi be bassa omukono ku ndagaano ku lwa UMSC nga baguza Julius Kyabahwa. UMSC yakkiriza okutunda ettaka lino ku ssente 3,584,000,000/- nga
zino ziriko okusasula emisolo gyonna egyetaagisa. Ssente zonna zaalina okusasulwa omulundi gumu nga zikyusiddwa mu Uganda shillings olwo ziteekebwe ku akawunti
ya UMSC eri mu bbanka ya Diamond Trust Bank. Mubajje ku lwa UMSC yakakasa Kyabahwa nti bwamala okubawa akaabwe baalina okumukwasa ettaka lye mu nnaku
ezitasukka 60 era bamwanjule ne mu bakulembeze bonna abeetaagisa kuli ne LC. Kyabahwa yalina okuweebwa ekyapa, ebiwandiiko ebiraga aba UMSC we baasalirawo
okutunda ettaka, obufaananyi bw’abaatunda, konsitityusoni y’abaatunda n’ebiwandiiko byonna ebiwerekera obuguzi mu mateeka.
Mulimu akawaayiro akagamba nti singa Kyabahwa alemererwa okufuna ettaka lye nga wayise ennaku 150 ng’amaze okusasula, UMSC yalina okumuddiza ssente zonna ng’emuteereddemu n’amagoba.