Omutindo gw’ensigo y’obummonde gussizza akatale kaabwo

OBUMMONDE yeemu ku mmere eyettanirwa ennaku zino mu ggwanga n’ensi yonna olw’obwangu mu kugirima, ebiriisa ebibulimu ate n’akatale.

Omulimi ng’akebera ku musiri gw’obummonde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBUMMONDE yeemu ku mmere eyettanirwa ennaku zino mu ggwanga n’ensi yonna olw’obwangu mu kugirima, ebiriisa ebibulimu ate n’akatale.
Dr Alex Barekye, eyali akulira ekitongole kya Kakwekano ekinoonyereza ku bummonde ng’akola ne Kawanda agamba nti, obummonde mmere erimu ebiriisa byonna omuntu bye yeetaaga ate nga tebirina bulabe wadde ku balwadde ba ssukaali.
“Obumonde buvudde mu ndya
ebadde amanyiddwa ey’okufumba nga kati kkampuni ez’enjawulo zibukolamu ebintu nga cipusin’obuwunga obukozesebwa okuzitoya ssupu era nga n’okulima kugenda kudda mu mawanga agakyakula nga leero Misiri y’emu ku mawanga agasinga okubufulumya,” bw’agamba.
Annyonnyola nti, obummonde bukula mangu nga wakati w’ennaku 70-90 obeera okungula. Kino kitegeeza nti, kino kirime ekisobola okutambula n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ate nga buvaamu amagoba, nga mu yiika esobola okuvaamu wakati w’akakadde kamu n’ekitundu n’obubiri.
OKUKOLERA AWAMU
Komayombi Bulegyeya, akulira ekibiina ekigatta abalimi, abasuubuzi n’abaliko bye bakola mu bummonde ekya Uganda National Potato Organization bwe yabadde ayogerera mu lukuhhaana lwa bonna e Kira yagambye nti, akatale k’obummonde mu Uganda n’ebweru keeyongera buli lukya kyokka tewannabaawo busobozi bufulumya bungi bwetaagisa.
“Okusobola okufuna mu kirime kino, twetaaga okukwatira awamu ng’abakwatibwako mu mulimu gw’obummonde okutandikira ku banoonyereza okufulumya ensigo, abalimi, abasuubuzi, abagattako omutindo n’abalala okulaba ng’obummonde bufuulibwa bizinensi evaamu ssente,” bw’agamba.
OBWETAAVU BW’ENSIGO
John Mugisha omu ku bakulira ffaamu ya Namakwaland e Masaka agamba nti akatale k’obumonde buli lukya keeyongera kyokka ng’amakungula tegeeyongera nga kiva ku bbula ly’ensigo ennongooseemu esobola okuwa abalimi amakungula amalungi.
Agamba nti, kkampuni nnyingi ezeetaaga obummonde okuva mu Uganda kyokka nga balina ekika kye beetaaga n’obungi obwetaagisa nga wano abalimi bagenda okusobola okufuna ssente okuva mu nnimiro zaabwe.
Annyonnyola nti ng’oggyeeko ensigo, waliwo obwetaavu bw’okusomesa abalimi ku nnima entuufu, tekinologiya, enkwata y’obummonde n’amakungula kuba obummonde bwetaaga okwegendereza obutayonooneka.
OMUTINDO GUBULAMU
Dr Denis Ngabirano, akulira kkampuni ya Sams Industries abakola kulisipu mu bummonde agamba nti, obummonde obusinga bwe bakozesa mu kkampuni n’abalala nga wooteeri, babusuubula kuva mu mawanga g’ebweru kuba omutindo gwe beetaaga teguli mu Uganda ate ng’akatale keeyongera buli lukya naddala ak’ebintu ebikolebwa mu bummonde.
“Ekimu ku bitta omutindo gw’obummonde bwa Uganda bwe bungi bwa ssukaali ali mu bummonde bwaffe ate ng’akyalemye okukwataganyizibwa ekituwaliriza okusuubula obummonde okuva e Kenya ne South Afrika.
OKUNOONYEREZA N’OBWETAAVU BW’ENKOLA Y’ENSINGO ENNUhhAMU
Dr Yonah Baguma, akulira ekitongole ekinoonyereza ku bulimi mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organization (NARO), agamba nti, kyannaku okuba ng’okunoonyereza ku bummonde kwatandika mu myaka gya 1980 kyokka Uganda
 kyatawaanyizibwa okufuna ebika by’omummonde ebituufu. “Ekikulembera okufuna ensigo entuufu kwe kubeera n’enkola y’ensigo ku ggwanga. Twetaaga okubeera abamalirivu, okukwataganyabonna abakwatibwako okwetooloola eggwanga okukakasa nti, ensigo y’obummonde entuufu efulumizibwa mu bungi era egabirwe abalimi mu budde,” bw’agamba.
“Njagala okubakakasa nti, nga NARO, tulina obusobozi okunoonyereza n’okufulumya
ebika by’obummonde okusinziira ku bwetaavu bw’akatale. Wabula obuvunaanyizibwa
bw’okuzaaza ensigo eno si bwaffe nga y’ensonga lwaki weetaagisa okubeerawo n’enkola ennuhhamu esobola okutuusa ensigo entuufu eri abalimi,” bw’agamba.
Wabula mu kaweefube w’okulwanyisa ebbula ly’ensigo, wagenda kuggyawo okusoomoozebwa kw’amakungula amangi nga kigenda kwetaaga okussaawo
enkola y’akatale okulabang’amakungula g’abalimi ate gafuulibwamu ebintu ebirala
ebisobola okubawa ssente baleme kufiirizibwa.
Obummonde kati bwetaaga kussibwako omutindo okutandikira mu nnimiro nga bukolebwamu okugeza kulisipu, bisikwiiti  n’ebirala.
GAVUMENTI EGENDA KWONGERA AMAANYI MU NARO
Minisita w’obulimi, Fred Bwino Kyagulaga agamba nti, ebiwandiiko bya minisitule biraga nti, Uganda efulumya ttani z’obummonde 800,000 kyokka ng’obwetaavu buli mu
ttani ezisoba mu bukadde bubiri buli mwaka. Abalimi mwekolemu ebibiina okusobola okufulumya ekiwera okutuukiriza obwetaavu bw’akatale. Abanoonyereza nabo bafulumye ebika ebyetaagibwa ku katale olwo ababwetaaga mu Uganda bakomye okubusuubula okuva ebweru w’eggwanga. Akubiriza abalimi okwettaniratekinologiya ng’okufukirira, okugimusa, okulimira mu biyumba n’ebirala, ssaako n’okugattako omutindo.