KKOOTI enkulu e Jinja eyongedde okussa akazito ku Mufti Mubajje bweragidde ttabamiruka atuule mu ngeri ey’enjawulo ng’akubirizibwa omuntu atalina ludda mu kifo ekitali Kampalamukadde bammemba basalewo ekiddako ku nsonga ez’okutunda emmaali y’obusiraamu.
Omulamuzi Faridah Shamilah Bukirwa Ntambi owa kkooti enkulu e Jinja ye yawadde ekiragiro kino nti ttabamiruka atuule mu ngeri ey’enjawulo mu bwangu ddala atunule mu bigenda mu maaso e Kampalamukadde n’oluvannyuma bawe kkooti lipooti ekwata ku bye banaaba basazeewo.
Kyaddiridde abasiraamu basatu okuli; Yudaya Babirye, Burhan Namanya ne Hussien Simbwa abatuuze be Mafubira mu disitulikiti y’e Jinja okwekubira enduulu mu kkooti nga bawakanya engeri Mubajje gy’addukanyaamu UMSC ng’amaka ge ekintu ekimenya amateeka. Mu nsonga ze baawadde mulimu aba UMSC okutunda ebyobugagga okuli; ettaka ly’e Ssembabule erya mailo ebbiri, limbo ya Basiraamu e Ntinda, limbo ya Basiraamu e Mbarara, poloti e Bakuli kyokka nga wonna tebalaga mbalirira ya ssente.
Mubajje bamulumiriza okwezza obuyinza bwonna nga yatuuka n’okulonda akulira akakiiko akalondesa nga teyeebuuzizza ku lukiiko lwa General Assembly. Teyakoma awo yakubiriza n’okulonda ssentebe wa General Assembly obuvunaanyizibwa obulina okubeera obwa kakiiko k’ebyokulonda.
Olukiiko lwa Joint Session olwatuula nga May 5, 2023 lwayimiriza eyali Ssaabawandiisi wa UMSC eyaliwo mu mateeka ne balonda Muhamadi Ali Aluma ng’omuwandiisi ow’ekiseera. Mufti ne Ssentebe bakola emirimu nga bakimanyi bulungi nti olukiiko lwa National Executive Committee ne Joint Session tezaalondebwa nga bagoberera amateeka agalambikiddwa mu konsitutyusoni y’obusiraamu.
Omulamuzi Bukirwa yalagidde olukiiko lutuuzibwe mu kifo ekitaliimu kyekubira ng’abawaabi mu musango guno balagiddwa okulonda omuntu anaamuyita. Ttabamiruka bwanaatuula kye bajja okusookerako kwe kulonda omuntu eyeetengeredde, atalina kyekubira anaakola nga ssentebe era akubirize olukiiko. Abawaabi ne UMSC baalagiddwa buli ludda okwesasulira ssente ze basaasaanyizza mu musango guno.
KKOOTI EJULIRWAMU EYIMIRIZZA
OKUTUNDA EBY’OBUSIRAAMU
Kkooti ejulirwamu eyimirizza ekiragiro ky’omulamuzi Christopher Gashirabake eyabadde akkirizza okutunda eby’obugagga bya UMSC basobole okusasula Justus Kyabahwa gwe baaguza ettaka lye Ssembabule. Abalamuzi okwabadde Omumyuka wa Ssaabalamuzi era nga y’akulira kkooti ejulirwamu Richard Butera n’abalamuzi Geofrey Kiryabwire ne Irene Mulyagonja Kakooza baayimirizza enteekateeka ez’okutunda emmaali y’obusiraamu okutuusa ng’omusango UMSC gwe yassa mu kkooti ng’ewakanya ensala ya kkooti enkulu nga gumaze okuwulirwa. Kiddiridde UMSC okujulira ku nsala ya kkooti enkulu eyasooka ng’eragira eby’obugagga Kyabahwa atunde ebyobugagga okuli; Plot 30 ku William Street mu Kampala, plot 23-25 ku Old Kampala (okuli ekitebe kya UMSC), Kyadondo Block 195 plot 5463, ettaka lye Kyanja (kuliko apartments), mailo y’ettaka esangibwa e Bukwe mu disitulikiti ye Hoima ne yiika emu eri e Lumbas mu disitulikiti y’e Jinja.
Poloti esangibwa mu kibuga ky’e Mbale, emigabo mu Uganda Ranchers Limited ne Commercial Holdings Limited abalina mailo z’ettaka ebbiri ezisangibwa e Migyera-Buluri ne poloti eri e Ntebe okuliraana Victoria Mall.
Mufti Mubajje yalabiddwako ng’ali n’abawagizi be eggulo nga bakuba Takbir nga bwe bajaganya olw’obuwanguzi bwe baatuuseeko mu kkooti.
Kyabahwa yagula ettaka lye Ssembabule ku buwumbi busatu n’obukadde 500. Kyokka oluvannyuma kyazuuka nga Albert Muganga yali yalifunako dda liizi eyali tennaba kuggwaako. Yagenda mu kkooti n’esalawo nti ye yali nannyini omutuufu.
Bwatyo Kyabahwa kwe kusaba bamuddize ssente ze omuli n’amagoba era bwe yabalirira ng’ataddeko engassi n’okufiirizibwa ng’alina okusasulwa obuwumbi 19