RCC w’e Kawempe, Yasin Ndidde atabukidde abazadde abaleka abaana abali mu luwummula okutaayaaya ekivaako okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka n’ategeeza ng’abazadde bano bwe bagenda okukwatibwa basibwe.
Ndidde bino yabyogeredde mu nsisinkano eyategekeddwa mu Makerere III nga yeetabiddwaamu abatuuze, abakulembeze b’ekitundu, n’abeebyokwerinda. Ono yalaze obwennyamivu olw’ebyokwerinda ebiddirira naddala mu kiseera kino nga tusemberedde ennaku enkulu kw’ossa n’abaana abataayaaya ng’ekizibu kiva ku bazadde abatafaayo
kulambika baana bano ku nneeyisa entuufu. Ndidde yategeezezza ng’abazadde bano abatafaayo ku buvunaanyizibwa bwabwe bwe bajja okukwatibwa basibwe emyezi mukaaga. Ndidde yategeezezza nti mu biseera bino bongedde okufuuza abamenyi b’amateeka ng’era obumenyi bw’amateeka bubadde bukendedde mu Kawempe. Yalabudde
abakulembeze b’ebitundu okwongera okubeera obulindaala ku mbeera y’obutujju. Wabula abatuuze abasoba mu 200 beemulugunyizza olw’obutafuna ku ssente za PDM nga balumiriza abamu ku bazivunaanyizibwako okuzikumpanya.
Ssentebe wa NRM mu Kawempe, Godfrey Luwagga yabagumizza nti buli eyeewandiisa ajja kufuna ensimbi zino.