Amawulire

Ssente z’omusolo ezibulankana zitabudde abakulembeze be Mukono

ABAKULEMBEZE e Mukono batuula bufoofofo, beebuuza ekirina okukolebwa okukomya okubulankana kw’ensimbi z’omuwi w’omusolo ekizihhamizza n’okukosa empeereza y’emirimu mu disitulikiti eno.

Muwuza (ku kkono), Bakaluba (wakati) ne Nambooze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE e Mukono batuula bufoofofo, beebuuza ekirina okukolebwa okukomya okubulankana kw’ensimbi z’omuwi w’omusolo ekizihhamizza n’okukosa empeereza y’emirimu mu disitulikiti eno.
Mukono y’emu ku disitulikiti ezitunuuliddwa gavumenti okuba nga zivaamu omutemwa
gw’ensimbi ezisoba mu buwumbi 10 ezikola GDP, ezisoloozebwa wabula nga zino zibulankanyizibwa ne ziyita mu makubo amalala agatamanyiddwa, okwawukanako n’endala okuli Wakiso, Kampala n’endala ezikyakutte ekisooka mu kusolooza omusolo omungi.
Olukiiko olwatuula gye buvuddeko oluteekateeka embalirira n’okugikubaganyaako ebirowoozo, lwannyonnyola nti mu mwaka gw’ebyensimbi 2022- 2023, baali basuubira okukuhhaanya ensimbi obuwumbi busatu mu disitulikiti yonna wabula baakuh− haanyaako obukadde obutaawera 900, ekintu ekiraga obunafu mu nkuhhaanya y’emisolo.
Embeera eno yannyonnyoddwa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Rev. Peter Bakaluba Mukasa mu lutuula lwa kkanso ya disitulikiti eno eyakomekkerezza omwaka n’atageeza nga disitulikiti bw’etunuuliddwa okuba ng’evaamu n’okukuhhaanya obuwumbi obuli wakati 5 ne 10 buli mwaka gwa byansimbi wabula nga kino tekinnasoboka olw’omutemwa gw’ensimbi ennyingi ezibulira mu mikono gy’abantu abavunaanyizibwa okusolooza ensimbi z’omusolo zino.
Yategeezezza ng’embeera eno bw’ezze ezuulibwa ababalirizi b’ebitabo ababadde bazuula nga bwe waliwo okubulankanya kw’ensimbi n’obutakwatagana bulungi mu mbalirira y’ensimbi z’omuwi w’omusolo ezisoloozebwa okuviira ddala wansi ku
basuubuzi abasasula emisolo gino, abagikuhhaanya okutuukira ddala ku bazituusa mu ggwanika lya disitulikiti. Yagambye nti kyewuunyisa nti emisolo mingi gibulira eyo ne
gitakuhhaanyizibwa.
Okugeza nti abazimba ebizimbe ssente baziwa abo abakuh− haanya emisolo ne bazitemera wakati oli n’azimba essundiro lye ery’amafuta n’alimaliriza naye
nga tasasudde misolo. Omulala n’azimba ekkolero eddene n’alimaliriza naye nga ne pulaani teyagisasulira kubanga ssente z’omusolo yaziwa abantu ab’olubatu ne bazizza mu nsawo zaabwe.
Yagasseeko nti olumu osanga ng’ omuluka ogumu omuli enkumu n’enkumu za bizinensi
naye ng’abakuhhaanya batugamba nti mulimu bizinensi ttaano zokka
naye nga bw’otunuulir n’okulondoola bizinensi eziri mu kitundu zisoba ne mu 100.
“Abakuhhaanya ssente z’omuwi w’omusolo balya ndye nga tebafuddeeyo ku mpeereza ya mirimu gy’abantu be tukulembera era twatudde ne (CAO) avunaanyizibwa ku bakozi
mu disitulikiti twekebere ekizibu tukisalire amagezi,” Bakaluba bwe yategeezezza.
Yannyonnyodde ng’omwaka ogujja bwe bagenda okutandika ku nkola empya
emanyiddwa nga IRAS (Integrated Revenue Adminisitrative System) ey’okusolooza emisolo gino gye balinamu essuubi ery’okubayambako okulaba ng’ensimbi zonna ezikuhhaanyizibwa okwetooloola disitulikiti zituuka butereevu mu ggwanika.
ENKOLA YA IRAS
Newankubadde nga bangi abavunaanyizibwa ku kusolooza ensimbi z’omusolo guno naddala abaami b’emiruka n’abalala bakyasimbidde enkola eno ekkuuli,
abakulembeze ab’enjawulo naddala ab’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’ensimbi aka disitulikiti basuubira nti enkola eno egenda kubayambako okumalawo ekizibu kino.
Kigambibwa nti enkola eno yatongozebwa gye buvuddeko e Mukono era y’enkola egenda okukozesebwa okusasula emisolo mu mwaka gw’ebyensimbi 2023-
2024 kyokka nti yatabula abaami b’emiruka abamu ne batuuka n’okwagala okusuulawo omulimu gwabwe, olw’ensonga nti enkola eno ssi yaakukubaganya okukwata
ku ssente y’omuwi w’omusolo, era nga ssente zino za kusasulwa butereevu ku magombolola olwo zigende ku disitulikiti.
Okusinziira kw’avunaanyizibwa ku by’ensimbi ku lukiiko olukulembera disitulikiti eno era amyuka ssentebe Asuman Muwumuza Lubowa, yategeezezza ng’abaami b’emiruka bano bwe baaweereddwa kompyuta ezigenda okweyambisibwa mu mulimu guno.
EBIRALA EBIREMESEZZA OMUSOLO OKUKUNG’AANYIZIBWA NGA BWE
GUSUUBIRWA E MUKONO
Muwumuza yategeezezza nti emu ku nsonga endala ekyasinze okuvaako disitulikiti okufuna ensimbi z’omusolo entono bwe bubuga obutono obwavangamu ssente zino okuba nga bwetongola ne bufuulibwa Town Councils ezeetongodde era ng’ ensimbi
ezisoloozebwa tezitwalibwa ku disitulikiti.
Yannyonnyodde nga ssente ze bakuhhaanya bwe ziri entono ennyo ate ng’emirimu egiteekeddwa okukolebwa mingi nnyo okusinziira ku nsimbi ezikomezebwaawo
okuva mu gavumenti eya wakati. “Ssente ezijja okuva mu gavumenti zirina emirimu emitongole gye ziteekeddwa okukola ate ziba ntono y’ensonga lwaki emirimu egimu naddala egyo egigwa gitalaze ng’emigga egigwaamu n’enguudo ezigwaamu, zitulema
okukwataganya mu budde.
EKY’OKUKOLEBWA OKUTANGIRA OMUSOLO OGUBBIBWA
Abamu ku bakulembeze ba disitulikiti eno bannyonnyodde nga bwe bazze bagezaako
okulwanyisa ekizibu kino kyokka ne balemesebwa olw’okusoomoozebwa kwe balina
nti abeezibika ensimbi zino bagulirira amakubo gonna agandiyitiddwaamu okulwanyisa embeera eno naddala abo abandibadde babalonkoma ng’olw’ensimbi ezibaweebwa kino kiziyiza okuboogera.
Bano era bannyonnyodde ng’embeera eno bw’etekosezza Mukono yokka era nga waliwo omukululo omuwanvu okuviira ddala wansi ku be basoloozaamu omusolo guno, abasolooza ensimbi, ba CAO okutuukira ddala ku bakulu mu kakiiko ka ‘Permanent Secretary’ abaweebwa ku mutemwa gw’ensimbi zino olwo ne batuusa ez’ebitundu mu
ggwanika ly’ensimbi za gavumenti.
EMIRIMU EGIZING’AMYE MU DISITULIKITI OLW’EKIZIBU KINO
Muwumuza yannyonnyodde nti emirimu mingi nnyo egizihhamye olw’ebbula ly’ensimbi ezikola emirimu gino omuli enguudo ezigwaamu n’ezo eziwomoggose
naddala mu biseera bino eby’enkuba okuli eziri mu Nakisunga, e Namuyenje ku mugga gwa Mwola, e Namuganga ne mu bitundu ebirala.