Abeebijambiya balumbye ab’e Buddo ne batema omukuumi wa Munyagwa

ABEEBIJAMBIYA balumbye ekyalo Kimbejja ekisangibwa e Buddo mu Town Council y’e Kyengera ne batema n’okunyaga abatuuze.

Amaka ga Munyagwa.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Abeebijambiya #Buddo #Munyagwa #omukuumi

Bya Denis Kizito Ne Henry Kasomoko

ABEEBIJAMBIYA balumbye ekyalo Kimbejja ekisangibwa e Buddo mu Town Council y’e Kyengera ne batema n’okunyaga abatuuze.

Agamu ku maka agaazindiddwa mwemuli n’ag’eyali omubaka wa Kawempe South, Mubarak Munyagwa ng’eno baatemye omukuumi we, Benjamin Mpaka era mu kiseera kino ajjanjabirwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu.

Munyagwa, eyasangiddwa ku kitanda e Mulago ng’ajjanjaba omukuumi we yategeezezza nti abatemu we baabazindidde yabadde yaakakomawo awaka ng’ava ku ttivvi emu gye yabadde ku pulogulaamu.

Mpaka

Mpaka

Yagambye nti abatemu baabadde nga 15 nga balina ejjambiya n’emmundu era bakira batema omukuumi we nga bamubuuza wa mukama we gy’ali.

Yagasseeko nti; baakubidde poliisi era olwazze abatemu ne babuuka ekikomera ne badduka.

Ng’oggyeeko amaka ga Munyagwa, abatemu baalumbye amaka amalala 4 mu kitundu.

Dan Sentamu, omutuuze w’omu kitundu kino nga naye baamulumbye yagambye nti abatemu abaabadde n’ebijambiya bazze bambadde obukookolo ne bakoona endabirwamu z’oluggi ne bayingir, olwatuuse ne bamulagira okubawa ssente zonna z’alina, era baagenze n’obukadde obusoba mu bubiri, essimu ttaano ne kompyuta.

Baayingiridde ne Charles Baliggwa, wabula ono ekyamuyambye nti we baakoonedde ennyumba ye ku ssaawa 8:00 mu ttumbi yabadde awulira n’akuba enduulu ne badduka.

OBUMENYI BW’AMATEEKA BUSUSSE

Ronald Kiyingi, omu ku batuuze yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buli lunaku olukya bweyongera mu bitundu by’e Buddo nga ne mu wiiki ewedde ababbi baalumba ekyalo ky’e Nakasozi - Buddo ne batema abantu n’okubabba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti batandise okunoonyereza.