Kasolo Group ezzeemu okutigomya ab’e Nabweru

ABATUUZE b’e Katooke mu divizoni ye Nabweru mu munisipaali y’e Nansana basattira olw’akabinja k’abavubuka ababbi aka ‘Kasolo Group’ akazzeemu okubatigomya, nga kati basula ku bunkenke.

Poliisi lwe yasalako oluguudo lw’e Katooke olufuuse akattiro..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kasolo Group #ezzeemu #okutigomya #Nabweru

Bya Steven Kiragga

ABATUUZE b’e Katooke mu divizoni ye Nabweru mu munisipaali y’e Nansana basattira olw’akabinja k’abavubuka ababbi aka ‘Kasolo Group’ akazzeemu okubatigomya, nga kati basula ku bunkenke.

Abavubuka bano ab’omutawaana, bakeera kuteega bantu abagenda okukola ne babakuba saako n’okubanyaga, era bangi ku batuuze banyiga biwundu.

Akabinja kalimu abavubuka n’abaana abali wakati w’emyaka 11 ne 20, nga bakozesa amayinja ga ppeeva okukuba abantu ku mitwe ne bawunga olwo ne babanyaga nga tewali ayamba.

Basinga kwegiriisiza mu bifo omuli obukubo obuyita ku njazi za Jinja Kalooli, oluguudo lwa Maganjo - Katooke n’ebifo ebirala bingi.

Evaresto Degumisa, y’omu ku balozezza ku bukambwe bw’abavubuka bano. Ono baamuteega ne bamuwuula omuggo ku mutwe, agenda okuddamu okutegeera nga pikipiki baagitutte dda.

Degumisa agamba nti; “Nali nyinyuse nga nzira waka kwebaka, omusaabaze n’annyimiriza n’ahhamba mutwaleko, kyenkana nga kumpi ne we ndaga era ne nzikiriza n’atuula ne nvuga. Bwe twatuuka mu kkoona ly’e Jinja - Kalooli, n’asooka annyimiriza era awo we bankubira omuggo omunene ku mutwe ne ngwa wansi boda yange ne bagibba!” Degumisa bwe yagambye wakati mu nnyiike.

Degumisa agamba nti baamubbako ssente ze zonna ze yalina, kyokka eky’ennaku bwe yagezaako okugirondoola ng’akozesa akuuma ke yali yateekamu, yakizuula nti baali baakaggyamu ne bakasuula, bo ne beeyongerayo ne pikipiki.

Ssentebe wa Katooke A, Zaidi Ssembaage yasabye ab’ebikomera mu kitundu okukolagana obulungi ne LC basobole okutema empenda z’okuteeka amataala ku bikomera byabwe kuba abamenyi b’amateeka bakozesa obufo obulimu enzikiza okuteega abatuuze.

Ye ssentebe wa divizoni y’e Nabweru, Kassim Jjumba agamba nti obulumbaganyi ku bantu bweyongera nnyo ng’abaana bali mu luwummula bw’ogeraageranya nga bali ku ssomero. Alumiriza nti abaana bangi abasoma naddala abali mu siniya beenyigira mu bubbi.

RDC wa Nansana, Ali Shafick Nsubuga yalabudde nti bagenda kwongera amaanyi mu bikwekweto mu kitundu kino.