Amawulire

Supreme Mufti Galabuzi awabudde ab'ettwale lya Kasangati

SUPREME Mufti, Seeka Muhamad Galabuzi, awadde enkiiko eziddukanya emizikiti amagezi okuyambako okumalawo entalo mu mizikiti n'obusiraamu okutwaliza awamu.

Supreme Mufti Galabuzi awabudde ab'ettwale lya Kasangati
By: Moses Nyanzi, Journalists @New Vision
SUPREME Mufti, Seeka Muhamad Galabuzi, awadde enkiiko eziddukanya emizikiti amagezi okuyambako okumalawo entalo mu mizikiti n'obusiraamu okutwaliza awamu.
 
"Mbasaba naddala emizikiti egiri mu kibuga nga mulina awava ssente eziriikiriza omuzikiti okussaawo enkola esasulangayo Imaam ensako okuva ku ssente ez'omwaziinyi n'alongoosa omuzikiti. Mukomye okuziyisa obuyisa ne muzituuza ku z'akawunti ne basigala nga beerya nkuta. Kino kigenda kumalawo entalo ezifumbekedde mu mizikiti egy'enjawulo. Abantu banno bakola omulimu gwattendo,"bwatyo Seeka Galabuzi bwe yawabudde.
 
Yabadde mu kusaala Swala ya Juma gye yasaalidde mu muzikiti gw'ettwale lya Kasangati gye yayaniriziddwa ssentebe waagwo, Shafik Ssekalaala, Imaam Katongole Nakumbo. Seeka Galabuzi yayise n'abatwala Obusiraamu mu Wakiso,ne Kasangati.
 
Mufuti Galabuzi Ng'ayogerera Mu Muzikiti E Kasangati.(moses Nyanzi)

Mufuti Galabuzi Ng'ayogerera Mu Muzikiti E Kasangati.(moses Nyanzi)

Galabuzi yasabye Abasiraamu okusigala obumu bwe yayogeddeko nga obukyaliwo n'agamba nti tewali njawukana yonna ng'abasinga bwe babijweteka.
 
Supreme Mufti olunaku lwonna yalumaze alambula ebifo ebyenjawulo mu Kasangati omuli amakolero, amasomero, n'ekigendererwa kye yagambye nti ayagala abantu bamumanye naye abamanye, saako okulambula obukulembeze bw'Obusiraamu obwa wansi okulaba oba bukolera abantu.