Amawulire

Olukwe lw’okusuula Mpuuga ne Bwanika lulimu abanene mu NUP

ABADDE akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga (Nyendo - Mukungwe) ne Abed Bwanika bongedde okusattira bwe bagudde mu pulaani eyalukiddwa abanene mu kibiina kya NUP ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine’, obutabawa tiketi mu kulonda kwa 2026.

Mpuuga (ayogera), Namayanja (ku kkono) ne Bwanika.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABADDE akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga (Nyendo - Mukungwe) ne Abed Bwanika bongedde okusattira bwe bagudde mu pulaani eyalukiddwa abanene mu kibiina kya NUP ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine’, obutabawa tiketi mu kulonda kwa 2026.
Embeera eno y’eri emabega w’olutalo kakuuse oluli e Masaka, Mpuuga gye yaweze obukiiko bwa ‘Kunga’ obwateekebwawo Fred Nyanzi amanyiddwa nga ‘Chairman Nyanzi ’ akulira eby’okukunga mu NUP.
Akulira ‘Kunga’ mu Buganda, Faridah Nabatanzi yavuddeyo n’agugumbula Mpuuga nga bw’agezaako okutaataaganya enteekateeka z’okuzimba emisingi gya NUP okuva wansi ku byalo ng’ate akimanyi bakyetaaga obuwagizi okusobola okunyweza NUP n’okwetegekera okulonda kwa 2026.
“Mpuuga tumulaba byonna by’akola aludde ng’atubojja ku luwonzi. Yatuuka n’okugaana okwetaba ku mikolo gy’okutongoza obukiiko bwa ‘Kunga’ e Masaka ng’agamba nti ekitundu yakinunula dda bagende awalala nga Ankole, obukiika kkono, NUP gyetalina buwagizi gye baba banunula,” Natabanzi bwe yagambye.

MPUUGA BAMUTADDEKO WE MAKERERE
Mu pulaani y’abanene ba NUP okusuula Mpuuga, waliwo abantu babiri okuli n’omusomesa w’oku yunivasite y’e Makerere be batandise okwekenneenya nga kuliko Ssebina Lubowa Gyaviira ne Alice Nannungi okusalawo ani gwe bawa kkaadi mu kalulu ka 2026.
Ssebina, ng’oggyeeko okuba omusomesa ku yunivasite e Makerere, alina emirandira mu Buganda kuba ye katikkiro w’ekika ky’Engo, era Ssaabakristu w’ekigo kye Wakiso ate nga munnalotole era munnabyamizannyo.
Omulala aba NUP gwe baagala okusikiza Mpuuga ye Alice Nannungi ng’ono kkansala wa divizoni ye Mukungwe ku lukiiko lwa City. Ayogerwako ng’omu ku bassa ssente mu mirimu gya Kunga eMasaka.
Yeeyogerako ng’eyatwala edda emitima gy’abantu ng’alumiriza Mpuuga nga bwe yasuulawo abaamunoonyeza akalulu.
ABEESIMBYE MU MPUUGA
Ng’oggyeeko Chairman Nyanzi, olutalo lulimu ne mmeeya wa City ye Masaka, Florence Namayanja gwe balumiriza okutembeeta Ssebina era nga gye buvuddeko yeetaba ku mpaka z’emipiira gye yategeka ng’ayita mu kibiina kya Lubowa Ssebina Foundation ekiyamba abakadde n’okutumbula ebyemizannyo.
Mikwano gya Namayanja gyategeezezza Bukedde nti Mpuuga naye awagira Michael Mulindwa Nakumusana ku bwammeeya wa City era nabo si beetegefu kumuleka ng’ayinaayina. Ekimu ku bisinze okutiisa Mpuuga kwe kuba nga Ssebina alaba ng’asensedde abanene ku kitebe era wiiki ewedde yeetisse emmotoka ekubyeko ebitabo, peeni n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kusoma n’abitwala ku kitebe era ne biweebwa abaana b’abasibe.
Kigambibwa nti mukyala wa Kyagulanyi, Barbie Itungo naye amatira Ssebina olw’okuba ye Munnayuganda eyasooka okusasulira BannayuBannayuganda ssente abaali balemedde e Dubai. Engeri Ssebina gye yatudde ku mwanjo ku kabaga ga Chairman Nyanzi, kyatabudde bangi ate Mpuuga teyagubaddeko.
ENKAMBI YA MPUUGA EWERA
Wabula abali mu nkambi ya Mpuuga bawera nti abaagala okumusiguukulula e Masaka banuune ku vvu kubanga munywevu gguluggulu, kuba alina obuwagizi okuviira ddala wansi mu bantu era enkwe ezikolebwa okumusuula tezimuyigula ttama.
Omu ku bakulembeze e Masaka eyasabye amannya ge okusirikirwa olw’ekifo kye kyalimu yagambye nti Mpuuga, muntumukulu kubanga ye mumyuka wa Pulezidenti era atuula mu nkiiko ez’enkizo, noolwekyo mu kiseera kino amaanyi ge agatadde ku kwongera kunyweza NUP e Masaka ne Uganda yonnaBWANIKA NAYE ASATTIRA
Juliet Kakande (Mukazi/Masaka City) bwe yabadde ku pulogulaamu ya Akabbinkano ku Bukedde TV yalumirizza basajja ba Chairman Nyanzi (aba Kunga e Masaka) naddala, Muhammad Bukenya nga bwe baagenda mu konsitityuwensi ya Bwanika n’alaga abalonzi Patrick Kuteesa nti gwe baleeta mu 2026. Eno y’ensonga lwaki Bwanika akyogera lunye nti tayagala kulaba muntu wa Kunga Masaka. Waliwo omukozi mu ofiisi ya Ssaabawandiisi Lewis Rubongoya amanyiddwa nga Mosh nga nzaalwa ye Kirimya-Kabonera era ye mukwanaganya w’emirimu gya Kunga mu konsitityuwensi.
Enkiiko z’akuba mu kitundu Bwanika aziwakanya era tazeetabaamu. Ensonda ku kitebe kya NUP e Kamwokya zaategeezezza Bukedde nti Bwanika bamulanga bw’amawale kubanga azze yeereega ku banene mu kibiina gattako n’okugendanga ku mikutu gy’amawulire n’ayogera ebintu ebitannakkaanyizibwa mu kibiina gattako n’obutawa kitiibwa bakulembeze banne
KATABAAZI NE SSEWUNGU BALUMBIDDWA
Francis Katabaazi (Kalungu East) alumbiddwa omusuubuzi Yusufu Kiruuta ayagala kkaadi era muganzi mu banene b’oku kitebe. Nkerettanyi ayogerwako ng’omuvubuka eyakolamu era atambula n’abavubuka ba Kunga. Bangi ku bantu abeetoolodde Kyagulanyi mikwano gye. Gonzaga Ssewungu (Kalungu West) yatuuka n’okuloopa Ismail Ssemakula e Magere ewa Kyagulanyi bwe yali akyaddeyo n’ab’e Kalungu nga bw’amufuukidde akayinja mu ngatto. Ssemakula ayogerwako ng’omugabi ng’ejjenje.
TEWALI NTEEGEKA YA KUSUULA MPUUGA NA ABED - SSAABAWANDISI LUBONGOYA
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yagambye nti bawulira okwerumaaluma okuli e Masaka naye nga ekibiina ekikkiririza mu kuteesa, bagenda kubayita enjuyi zonna babatabaganye amangu ddala okulaba nga tewali nteekateeka eyimirizibwa.
Yagambye nti tewali lutalo lunene luteekwa lweraliikiriza bammemba ba kibiina era teri ayagala kusuula Mpuuga ne Abed.

CHAIRMAN NYANZI AYOGEDDE KU BIRIWO

Chairman Nyanzi bwe yatuukiriddwa Bukedde, yagambye nti ebiri e Masaka tebisaana kwewanisa bantu mitima kubanga ye nga ssentebe wa Kunga, ebiruubirirwa bye, kwe kulaba nga NUP ebuutikira Uganda yonna.
Yagasseeko nti enteekateeka za ‘Kunga’ tezisobola kudda mabega wadde okuyimirizibwa kubanga eyo y’emu ku mpagi ekibiina kwe kiyimiridde okwagazisa abapya n’okwongera okunyweza abakadde ssaako okuzimba abakulembeze abalala.
Yalaze nti waliwo obwetaavu okutalaaga eggwanga lyonna era ab’e Busia, Mbale, Soroti yonna baabayita dda ssaako Masaka bateekateeka kugendayo. Yagambye nti okwerumaaluma okuli e Masaka ye takulaba nga ensonga era ye akiraba nga ekinyeebwa ekigudde mu kikopo kya caayi gw’onywa. “Ekinyeebwa ekigudde mu caayi wange gwe nnywa nkiggyamu nga sirina gwe nneebuuzizzaako era n’ensonga z’e Masaka sizirabamu wadde ekizibu era tuteekateeka kugendayo nga entegeza ziwedde mu kiseera ekituufu,” Nyanzi bwe yagambye. Yenna ng’ayogeza bumalirivu, yalaze obwetaavu bwa Bannamasaka okubatwalira Kunga n’agamba nti waliwo abakulembeze abaabayita edda omuli n’ababaka ba palamenti abasoba mu basatu era tebasobola kubayiwa nga ekiseera kituuse.