Abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati ne Mmengo basibidde Charles Bbaale Mayiga ne mukyala we entanda y'obufumbo

Feb 11, 2024

EMBAGA ya mutabani wa Katikkiro Charles Peter Mayiga yasitudde ebikonge okuva  mu gavumenti eyawakati,Obwakabaka,abasuubuzi, ba ambasada,Bannaddiini okuva mu nzikiriza zonna n’abakulembeze ku mitendera gyonna mu ggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision

EMBAGA ya mutabani wa Katikkiro Charles Peter Mayiga yasitudde ebikonge okuva  mu gavumenti eyawakati,Obwakabaka,abasuubuzi, ba ambasada,Bannaddiini okuva mu nzikiriza zonna n’abakulembeze ku mitendera gyonna mu ggwanga.

Abagole ye Charles Bbaale Mayiga ne Sonia Elizabeth Nnabagereka ow’obutiko nga bano baawadde Mayiga essanyu Omulangira David Wasajja lyeyagambye yasemba kulimulabako mu 1993 ku matikkira ga Kabaka e Nnagalabi.

Bano baagattiddwa Omusumba w’e Masaka, Serverus Jjumba ne bafaaza abawerako ku lwomukaaga February 10,2024. Yababuulidde nti kino kyebagenzeemu si kyabusuubuzi wabula ndagaano ya kyaluberera.

Maama Nnabagereka, Annet Anita Among, Owinny Dollo,Omuzaana Nankya n'Omulangira wasswa nga bali ku mukolo

Maama Nnabagereka, Annet Anita Among, Owinny Dollo,Omuzaana Nankya n'Omulangira wasswa nga bali ku mukolo

Kabaka Mutebi II yaweerezza abagole obubaka obwasomeddwa Wasajja. Bugamba “Bannaffe tubaagaliza obulamu obulungi mu bufumbo obutukuvu bwemutandise leero. Tusaba katonda abalungamye musobole okubeerangana mu byonna byemukola.”

Obubaka bw’aboogezi abalala bwetololedde ku kubakubiriza okukola ennyo ate n’okusalangawo ensonga z’amaka gaabwe bokka so si kuddukira mu bakadde baabwe.

Mu lutikko e Lubaga, Sipiika wa Palamenti Anita Among yasabye Nnabagereka okukolanga ebyo bba byasinga okwagala ate n’obutakulembeza bitiibwa mu maka n’awa eky’okulabirako nti ye obwasipiika abuleka ku palamenti ate eka naddayo afumbira Ying.Moses Magogo.

Among era yakakasiza nti obufumbo buno bwebaagaliza Bannayuganda bonna nga y’ensonga lwaki palamenti yayisa etteeka erigaana obufumbo obw’ekikula ekimu.

Bbaale munnamateeka omutendeke ng’akolera mu kkampuni eyitibwa G&A advocates e Kenya gyeyasomera. Nnabagereka naye yasoma mateeka. Mu kkoowe eryo omukulu baabadde ku mukolo guno ye Ssabalamuzi Owiny Dollo eyabasabye okutwala obuvunanyizibwa bw’okwaaza ensi n’okugigunjulira  abantu ab’obuvunnayizibwa ng’ekikulu.

Entujjo yabadde ku woteeri Serena mu Kampala. Wano omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa weyasinzidde n’abakuutira okukola okusobola okugonza obulamu ate ye Katikkiro Mayiga n’abasaba okukulembeza ebyo byokka ebibawa essanyu so ssi bigambo by’abantu.

Baasibiriddwa entanda nga Among yabawadde ente 10,Robinah Nabbanja eyakikkiriddwa Hajjat Minsa Kabanda yawereza ente 10,Tayebwa n’abawa ente n’abalala bawaddeyo baatodde ssente ku mukolo guno.

Abaagalana bano basisinkana mu 2013 nga basoma e Namugongo era oluvanyuma ne baddamu okukwatagana ku misomo mu yunivasite e Nairobi. Bbaale yebazizza abantu okugondera okusaba kwabwe eky’okwambala obulungi.

Afrigo band n’omuyimbi Azawi bebasanyusizza abagenyi okwabadde Bakatikkiro okuva e Busoga ng’eno Lilian Naigaga azaala Nnabagereka gyava, Bunyoro ng’eno muwala wa Mayiga gyeyafumbirwa ne Japadhola ng’eno muwala we omulala Samantha Ofwono gyeyafumbirwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});