OMUSUMBA w"essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa asabye abakulisitu okuwulira obwetaavu n"okulaajana kwa bannabwe nga babakolera ebikolwa eby"ekisa.
Asinzidde mu keleziya e Kasana mu Mmisa y"okutandika ekisiibo n"asaba buli muntu abeere musamaliya wa munne ate baleme kweraga nga baliko bye bakoledde ebirungi.
Abasabye okwongera amaanyi n"obudde mu kwegayirira Katonda asobole okumalawo ebizibu ebibamalako emirembe.
Omusumba Mukasa abadde ayambibwako Viika general w"essaza lino Msgr Francis Ekizeviya Mpanga ne basiiga abakulisitu evvu n""okubawa sakalamentu ya Wulalisiya.