Lukwago ali mu kattu, Akazito FDC, NUP ne NRM ke bamutaddeko okumusuuza ‘omugaati’
Feb 17, 2024
BANNABYABUFUZI abaamannya beesowoddeyo okusuuza Erias Lukwago ekifo kya Loodi Meeya ky’amazeemu ebisanja ebisatu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Kizito Musoke ne Hannington Nkalubo
BANNABYABUFUZI abaamannya beesowoddeyo okusuuza Erias Lukwago ekifo kya Loodi Meeya ky’amazeemu ebisanja ebisatu.
Ekyewuunyisa abooludda oluvuganya be basinze okumussaako akazito. Bammeeya babiri abakulembera munisipaali za Kampala okuli; Ali Kasirye Mulyannyama
(Makindye) ne Emmanuel Sserunjogi (Kawempe) be bamu ku beegwanyiza ekifo.
Ekimu ku bisinze okuleeta akasattiro kwe kuba ng’omukago omwegattira ebibiina by’oludda oluvuganya ogwa United Forces for Change gulimu abantu bana abaagala ekifo okuli; Mulyannyama, Sserunjogi, Fred Nyanzi (Chairman) ne Lukwago yennyini.
Omukago gulimu NUP, FDC y’e Katonga, ANTI, ekiwayi kya UPC ekikulemberwa Peter Walubiri, PPP n’ekiwayi kya DP ekikulirwa Lulume Bayiga (Buikwe South).
Ekifo kya Loodi Meeya kitunuuliddwa ng’ekitadde omukago mu kusoomoozebwa bwe balemwa okukkaanya.
Muhammad Nsereko, Ali Mulyannyama
Omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko n’eyali omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi nabo baagala. Kw’ogatta ne Daniel Kazibwe (Ragga Dee) owa NRM. Munnamateeka wa DP, Erias Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti Loodi Mmeeya alina okuba omuntu omulwanyi, atekkiriranya ate ng’alumirirwa n’abantu be. Lwa nsonga nti mu kibuga mulimu buli kika kya muntu.
CHAIRMAN NYANZI
Ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi Ssentamu, eyakazibwako erya Chairman yatandika dda okwegwanyiza ekifo kya Loodi mmeeya era abamuli ku lusegere lye linnya lye bamuyita kati.
Nyanzi yategeezezza Bukedde nga bwe kiri ekituufu era entegeka zonna zitambula bulungi wadde ng’ekibiina kye ekya NUP kirina okusooka okumuwandako eddusu.
ERIAS LUKWAGO
Lukwago bwe yabuuziddwa ky’ayogera ku by’okuddamu okwesimbawo yagambye nti entebe eno ya Bannakampala era tagaana muntu yenna agyegwanyiza. Teyayongeddeko kirala. Kyokka bangi bakyagimwagaliza.
FDC EYA NAJJANANKUMBI EREESE KASOZI
Eyali omubaka wa Makindye East, Ibrahim Kasozi yalangiridde nga bw’ajja ku bwa Loodi Mmeeya mu 2026.
Kasozi yagambye nti yasalawo dda okwesimbawo ng’akitegedde nti Lukwago tagenda kwesimbawo ate ekifo tebasobola kukirekera muntu mulala. Yaweze nti agenda
kukozesa amaanyi gonna okulaba nti ekifo akiwangula.
MUHAMMAD NSEREKO
Omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko yalangirira dda nga bw’atagenda kuddamu kwesimbewo ku bubaka. Era mikwano gye ne girangirira nti ajja ku
bwa Loodi Mmeeya.
Nsereko amaze ebisanja bisatu ku bubaka bwa Palamenti ng’ekyasooka yali ku NRM ate ebisembyeyo avuganyizza nga talina kibiina. Teyafunise kubaako ky’ayogera ku nsonga eno wadde nga basajja be baategeezezza nti waali nnyo.
MULYANNYAMA
Ali Kasirye Mulyannyama ye Mmeeya w’e Makindye era ye yasooka okulangirira nti ekifo akyagala. Mwogezi mulungi era asobola bulungi okukwatagana n’abantu ba Ghetto.
Kyokka enkambi ye yaguddemu akatengo oluvannyuma lwa Nyanzi okulangira nti ayagala ekifo kye kimu. Mulyannyama yagambye nti obuzibu ekibuga bwe kirina ku
kifo kya Loodi Mmeeya, bazze balonda abazannyi abatuufu mu nnamba enkyamu. Waliwo omuntu nga yandibadde mulungi ku bubaka bwa Palamenti ate abantu
ne babawa obwa Loodi Meeya.
EMMANUEL SSERUNJOGI OWEDDEMBE
Mmeeya wa Kawempe Munisipaali, Emmanuel Sserunjogi oweddembe naye agambibwa okuba nti ekifo akyagala era mikwano gye yagisiibudde.
Ennaku zino awulirwa ng’agugumbula Lukwago mu lujjudde ng’awakanya enkola ze.
Ekibiina kya NRM ensonda zaategeezezza nti tekinnafuna muntu agenda kwesimbawo
wadde nga Daniel Kazibwe (Ragga Dee) yategeezezza nti bwe bamusimbawo, ekifo akitwala.
No Comment