Ebintu by’olina okutunuulira ng’otegeka eddiiro awaka

Feb 25, 2024

KANSUUBIRE wali oyingiddeko mu nnyumba ennungi gyotiisa amaaso wabweru, kyokka oluba okutuuka mu ddiiro n’olaba nga waliwo ekibulamu wadde ng’ebintu bayinza okuba baagula bya bbeeyi.

NewVision Reporter
@NewVision

KANSUUBIRE wali oyingiddeko mu nnyumba ennungi gyotiisa amaaso wabweru, kyokka oluba okutuuka mu ddiiro n’olaba nga waliwo ekibulamu wadde ng’ebintu bayinza okuba baagula bya bbeeyi.
Olumu kiyinza okuba nga kivudde ku bintu ng’ebitabo,amawulire n’ebyokuzannyisa ebisuuliddwa buli wantu. Oluusi eyinza okuba entegeka y’entebe, emmeeza, langi oba kateni oba ebifaananyi nga tebituukana na kyobadde osuubira.
ENTEBE N’EMMEEZA
Andrew Mbabazi omukugu mu by’okutegeka ennyumba okuva mu Ayodele Interiors agamba omuntu okugula entebe ennungi kyawukana ku ngeri gy’oziteeka mu nnyumba ne zinyumiramu.
Eddiiro lyonna lisaana okubeeramu entebe ennungi, kyokka nga si nnene nnyo oba entono ennyo okusinziira ku bunene bw’ekifo.
Mbabazi agamba ennyumba entono bw’ebeeramu entebe ennene ennyo kirabisa eddiiro
ng’eritassa olw’okuzimbirirwa kyokka era bwe zibeera entebe entono ennyo, mu ddiiro eddene lirabika ng’ekkalu. Obeera olina okusooka okupima obugazi bw’eddiiro nga tonnagula kibajje.
Prosper Byamungu, eyakuguka mu by’okutegeka ennyumba agamba nti alina eddiiro ettono tewali nsonga lwaki ogula entebe ennene ey’ebifo ebisatu. Gula ya bifo bibiri esobola okwanguwa okutambuzibwa okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala.
Kibeera kikyamu okukozesa ebika by’entebe ez’enjawulo ezitalina kakwate. Kyokka bwobeera waakukozesa ebika ebyenjawulo waakiri zibeere n’amabala oba langi ekwatagana obulungi.
Bwe kituuka mu kutegeka entebe oba emmeeza weewale okubiteeka okumpi n’ebisenge.
Ekisenge ne bwe kibeera kitono bwobiteeka mu makkati ekisenge kibeera kirabika ng’ekinene.
Kyokka ate ekisenge bwe kibeera ekinene entebe n’oziteeka mumakkati nga kuliko akameeza ebbali ne mubeera nga mutambulirayo ate kinyuma nnyo. Kirungi okukozesa emmeeza erina emigaso egiwerako ng’esobola okutereka ebintu ate ne muteekako ekikopo kya caayi oba okussaako egiraasi. Kirungi okuba ng’ekwatagana bulungi n’ebintu ebirala ebiri mu ddiiro.
EBIFAANANYI OBITEEKAWA?
Eddiiro eririna ebisenge okutali kintu lirabika bulala, era kibeera kirungi okubeerako ekifaananyi oba ekisiige kyonna. Byamungu agamba ekifaananyi tekirina kuwanikibwa nnyo waggulu oba wansi ennyo abantu ne batuuka okunuuka amaaso n’okulinnya ku ntebe okusobola okwetegereza bye watimba.
Amaaso galina okuba nga gatuuka ku kifaananyi awatali kusooka kukunukkiriza. Kibeera kirungi okukozesa ebifaananyi ebinene era ebirabika obulungi ebya ffamire yammwe. Kyokka nabyo tebirina kubeera bingi nnyo kuba biviirako ebisenge okulabika obulala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});