Amawulire

Abadde maama w'akulira ebivvulu bya kkampuni ya New Vision asiimiddwa

OMUSUMBA w'Obusumba bw'e Kanyanya Rocky Ssendegeya , akubirizza Abakristaayo okukuza obulungi abaana baabwe mu kiseera Katonda ky'abakuumira mu bulamu bw'ensi eno.

omugenzi Evelyn Tamale.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Godfrey Kigobero

OMUSUMBA w'Obusumba bw'e Kanyanya Rocky Ssendegeya , akubirizza Abakristaayo okukuza obulungi abaana baabwe mu kiseera Katonda ky'abakuumira mu bulamu bw'ensi eno.

Okusaba kuno, Rev. Ssendegeya, akukoledde mu kkanisa ya St. John's e Kanyanya mu Bussabandinkoni bw'e Gayaza  mu Bulabirizi bw'e Namirembe mu kusabira omwoyo gwa Evelyn Tamale maama wa mukozi munnaffe Phiona Tamale akulira ebivvulu bya kkampuni eno.

Mu kusaba kuno okwetabiddwaako abantu ab'enjawulo, Rev Ssendegeya agambye nti ekintu kye bayita omukululo mu nsi eno, kikulu nnyokubanga bangi abakujjukirirako.

Annyonnyodde nti buli lw'okuza obulungi abaana, omukululo gwo, gusigala gwogerwako ekiseera kyonna , era n'abantu bbo ne bakwenyumiririzaamu obulamu bwabwe bwonna, kwe kusaba Abkrisitaayo okutwala nsonga eno nga nkulu.

Asiimye abagenzi ba Tamale, abasobodde okukuza obulungi abaana baabwe ne bafuuka ekyokulabirako.

Mu kusaba kuno, kkampuni ya Vision Group ekiikiririddwa akulira obutale n'empuliziganya, Lorraine Tukahirwa.

Omugenzi aziikibwa leero e Buloba ku ssaawa 10:00.

Tags:
maama
akulira
ebivvulu
New Vision
asiimiddwa