Amawulire

Janet Museveni agguddewo eddwaliro e Kabowa n'akubiriza abantu okwettanira okutereka

MINISITA weby’enjigiriza  n’emizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni, agguddewo eddwaaliro e Kabowa  naasaba bannayuganda okwettanira okutereka nga bali wamu, batuuke ku binene. 

Mukyala Museveni naakulira ekibiina Kya Grameen amuddiridde ku kkono ye Musah Mbaziira Akulira Grameen
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

MINISITA weby’enjigiriza  n’emizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni, agguddewo eddwaaliro e Kabowa  n'asaba bannayuganda okwettanira okutereka nga bali wamu, batuuke ku binene.

Mukya Museveni mgakwasa aba Kitebi SS ebisumuluzo bya baasi

Mukya Museveni mgakwasa aba Kitebi SS ebisumuluzo bya baasi


Abadde mu lukungaana ku ssomero lya Kitebi SS, lwakubye oluvannyuma lw’okuggulawo eddwaaliro lya Henry K. Grameen Hospital eryazimbiddwa sipiika wa ggombolola y’e Lubaga era eyeesimbyewo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa paalamenti owa  Lubaga South  Musah Mbaziira ku lw’ekibiina kya Grameen Women Initiative, kyakulembera ng’omuyima waakyo ye maama Janet Kataha Museveni.
Eddwaaliro lyazimbiddwa Kabowa mu zooni ya Ssuuna okwongera okuyamba  ku bantu abateesobola mu Lubaga South okwongereza ku lya gavumenti lyokka eriri mu kitundu kino erya Kiteb Health Center III eribadde likaaba omujjuzo.
Mukyala Museveni yeebazizza  Mbaziira olw’okutambuza obulungi ekibiina kya Gramneen ekiyamba abakyala okweggya mu bwavu,   n’ategeeza nti ekirowoozo kino yaakiggya mu ggwanga lya Bangladesh, gyeyasanga bbanka ya Grameen emu ku z’amaanyi  mu nsi yonna nga yaatandikibwawo bakyala abeegattira awamu okwekulaakulanya ate nga tebaasoma kugenda wala, n’akireeta wano neyeebaza Mbaziira gwagambye nti akitambuzza bulungi era asuubira okukitambuza ne mu bitundu ebirala.

Mukyala Museveni naakulira ekibiina Kya Grameen amuddiridde ku kkono ye Musah Mbaziira Akulira Grameen

Mukyala Museveni naakulira ekibiina Kya Grameen amuddiridde ku kkono ye Musah Mbaziira Akulira Grameen


 Naasaba banna Lubaga okuyiira pulezidenti Museveni mu kalulu akajja olwebyo byakoledde eggwanga ate n’ebiralala bingi byakyaleeta okubaggya mu bwavu.
Mbaziira, yeebazizza maama Museveni olw’okumuteekamu obwesige naakkiriza amuweereze,  n’ategeeza nti ensigo ya Grameen gyeyaamutuma okusiga mu bakyala b’e Lubaga emeruse bulungi neebala ebibala.
N’ategeeza nti, batendese abakyala mu by’emikono nebayiga okukoal ebintu bingi nga; ebizigo, eddagala ly’engatto, Juice w’ebibala, ebitabo  n’ebirala nga kati beetaaga ekitongole kya UNBS kibakkirize okubitunda bonaagere okugaziwa ennyingiza.
Abakyala abasoba mu 60 baweereddwa ebyapa mu nkola ya Grameen ey’okubagulira ettaka okubayambako okufuna webabeera mu nkola ya kibanja mpola,  nebatendereza mukyala Museveni olwa puilojekiti eno gyebagambye nti ebatuusizza waggulu  nga kati bazimbye n’eddwaaliro, naabsa maama Museveni okubakwasizaako okufuna ebikozesebwa.

Musah Mbaziira

Musah Mbaziira


Aba Grameen baamutonedde ebirabo omubadde n’ekifaananyi kye ekisiige nabasiima.
Maama Janet  awaddeyo baasi ekika kya Scania eri essomero lya Kitebi SS okuyambako okutambuza abayizi,  gyebasuubiza bwebaakyalako ku ssomero lino ne pulezidenti Museveni mu April w’omwaka guno  wamu ne ssente okwongera okuzimba ebizimbe abayizi webasomera, ekikyamudde enyo abayizi nebanyeenya ku galiba enjole.
Haji Muhammad Kamulegeya akulira Kitebi SS,asiimye muky. Museveni olw’okutuukiriza obweyamo n’ategeeza nti balina abayizi 4500,  ng’okwongera okuzimba ebizimbe kigenda kubayamba okugaziya awasomerwa n’okwongera okutwala abayizi beebabaddenga bagoba olw’obufunda bw’ebizimbe.

Ekibiina ky'aba single Mothers

Ekibiina ky'aba single Mothers


Abakungu ab’enjawulo okubadde; minisita omubeezi owa tekinologiya Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, Minisita w’akanyigo k’e Luweero Alice Kaboyo, nankulu wa KCCA Hajat Sharifa Buzeeki, Haji Lule Mayiwa RCC wa Kampala, ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, omuwabuzi wa pulezidenti Sarah Kanyike, abakyala ba single Mothers ab’ekibiina Yamba maama  n’abalala bangi beetabye ku mukolo guno