Engeri gy'oyinza okutegekamu ekisenge kyo

Mar 10, 2024

ABANTU abamu bakola ensobi bwe batuuka okutegeka ennyumba ne balowooza kuddiiro kuba we watuukira abagenyi, kyokka nga bwotuuka mu bisenge walinga kasasiro.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU abamu bakola ensobi bwe batuuka okutegeka ennyumba ne balowooza ku
ddiiro kuba we watuukira abagenyi, kyokka nga bwotuuka mu bisenge walinga kasasiro.


Andrew Mpenja eyakuguka mu by’okutegeka amayumba ensobi ennene gyasinga  okulaba mu bisenge be bantu okulowooza nti gye balina okukuumira buli kintu kye batayagala ng’entebe ezikaddiye, engoye ezaayulika, n’engatto enkadde ze bassa wansi
w’ebitanda.
Agamba ebintu byossa mu kisenge birina kusinziira ku bugazi bw’ekifo. Tewali nsonga ekuguza kitanda kya fuuti 6 ku 6 nga tofissaayo wadde akabanga w’osobola okutuulako.
Ekisenge kirina okuba nga kissa nga kirina ekifo we musobola okutambulira.


Ekitanda kirungi ne kitunula ku kisenge, kyokka ate kibeera kikyamu okutunula mu kifo
ekibeeramu ebireekaana nga effumbiro oba we balabira ttivvi. Maureen Nakabuye naye
eyakuguka mu by’okuwunda ennyumba agamba ekisenge kyandibadde tekibulamu ntebe w’osobola okutuula. Ekuyamba okutuulamu ng’oliko byokola n’okuwummuliramu ng’olaba ttivvi. Kyokka entebe terina kubeera nnene ku muntu atalina kifo kigazi.
Olwokuba ng’ekisenge kifo kya kuwummula osobola okufuna entebe etali ya bulijjo kwosobola okutuula n’obeera ng’ali mu kifo ekyenjawulo.
WEEYAMBISE KAPETI NE PILLOW EBIRIKO
Nakabuye agamba nti abantu abamu bakola ensobi ne bajjuza obuliri bwonna ‘pillow’ ekintu ekikyamu. Bw’oba ozikozesezza zirina kubeera za kigero okusinziira ne ku bugazi bw’ekitanda. Obuliri bwe butabeerako pillow wadde bubeera bulabika
nga bulina ekibubulako era ne bwoyala otya wabeerawo ebbanja. Nakabuye Bwosalawo okugula kapetiemanyiddwa nga Rug, ebeera mu nnyumba yandibadde ngazi ng’ebikka ekitundu ekisinga eky’omu kisenge. Okukozesa kapeti entono ennyo tekiggyayo
bulungi bwa kisenge.
Bwe kituuka ku kateni, olina okutunuulira ebyetaago byo ng’omuntu. Bwobeera muntu
ayagala ennyo enzikiza osobola okugula kateni enzikivu ennyo. Kyokka bwobeera ng’oyagala nnyo ekitangaala osobola okukozesa ezo eziyingiza ekitangaala.
Ng’oggyeko wardrope emanyiddwa mu kutereka engoye, kyokka olina okulowooza ku kifo w’osobola okutereka engatto, n’ensawo. Osobola okukozesa ekitanda kyennyini n’oteekako w’otereka ebintu oba okukozesa ekifo ekiri waggulu kyotalinaako mugaso.
Langi ezamaanyi ng’emmyufu, kacungwa n’eya kyenvu si nnungi mu kisenge, era zisobola okukosa okuwummula kwo.
Ekisenge kyennyini tekisaana kubeera kikalu nga tekuli kintu ky’otimbyeko. Osobola okuwanika ekifaananyi oba ekisiige ekirabika obulungi era nga kijjudde okwagala.
ETTAALA KIKULU
Ettaala eyaka obulungi ya mugaso nnyo mu kisenge okusobola okukikuuma nga kiyonjo. Ekuyamba n’okukola emirimu emirala ng’okusomerayo ebitabo oba amawulire nga tewali akutawaanya. Kyokka kibeera kirungi ekitangaala ne kitabeera waggulu wokka. Amataala agamu gasobola okubeera mu nsonda n’okugula ekitaala kye bateeka ku bbaala g’ekitanda ku kameeza

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});