MINISITA w'ebyenjigiriza maama Janet Kataha Museveni akubirizza abakyala okwekwata Katonda mu mbeera jebayitamu.
Okwogera bino Mukyala Museveni abadde ayogerako eri abakyala mu kusaba okwatumiddwa "Omunagiro gwa Deborah (The mantle of Deborah) nga okusaba kuno kubadde mu kisaawe e kololo .
Minista Janet Kataha Museveni omukolo agwetabyemu ng'ayita ku mutimbagano .
Omukolo guno gwetabyeko abantu ab'enjawulo omubadde bannadiini , ababaka ba palamenti , abalamuzi , abayizi omukungaanya ow'okuntikko mu kampuni ya Vision Group Barbra Kaija n'ab'ebitiibwa abalala ab'enjawulo .
Akulira amawulire mu Vision Grp Mukyala Barbra kaija ng'ali mu kusaba
Minisita Janet Kataha Museveni era nga ye mukyala w'omukulembeze w'eggwanga asabye abakyala okunywerera ku katonda mu buli kimu kye bakola .
Mukyala Museveni agamba nti kikulu nnyo buli muntu okubeera n'okukiriza kubanga y'engeri yokka gyetuyinza okwengangamu ensi eno .
Mukyala Museveni era asabye abakyala okusigala nga bassa mu baami baabwe ekitiibwa kubanga abaami gy’emitwe gy’amaka so si kubavuganya
Omuwandiisi ow'ekyama mu ofiisi y'omukyala w'omukulembeze Irene Kauma ategeezezza nti omugaso gw'olukungaana kubadde kuzzaamu bakyala manyi wamu n'obutenyooma .
Apostle Isi Ignegba okuva e Nigeria era nga yakulira office y'omunagiro gwa Deborah era nga yakuliddemu enteekateeka z'omukolo yaasabidde abantu era mu kubuulira
kwe ategeezezza nga ekiseera bwe kituuse eggwanga Uganda okusituka mu buli mbeera yonna ey’okwekulakulanya