MINISITULE evunaanyizibwa ku kikula ky’abantu ewagidde ekiteeso eky’okuteeka omusolo ku masimu ga sereeza (smart phones) nga emu kungeri y’okuyamba okukuuma ‘content’ w’abantu gwe beekoledde wamu n’okuliyirira abayimbi ssinga babeera babbiddwako ennyimba zaabwe.
Akakiiko Nga Katunuulira Ebbago Lya Copyright
Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Regis Mutuuzo bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akali mu kwekennenya ebbago lya Copyrights and Neigbouring Rights Bill, ategeezezza nti buli ssimu empya ejja kuba erina okuggyibwako omusolo nga guno gusasulwa omulundi gumu okuwandiisa ebikwata ku ssimu ng’olwo buli ssimu oba kkompyuta ky’etondawo kiraga nnyini kyo.
Minisita Mutuuzo ng'annyonnyola.
Ebbago lino lyaleetebwa minisita wa ssemateeka, Nobert Mao nga litunnulidde okulung’amya obuyiiya omuli ennyimba, emizannyo (drama), ffirimu n’ebirala wamu n’enkyukakyuka empya mu tekinologiya okulaba ng’abantu tebabbibwako bintu byabwe bye beeyiyiizza.
Mutuuzo asabye nti akawaayiro 15 (C), Private Copy Emulation balina okuteekawo ensonga y’okuggya omusolo ku byeyambisa okukwata amaloboozi n’obutambi olwo kiyambeko abeera abiddwako ebibye okwekubira enduulu mu mateeka.