Bamukubye mizibu lwa kubba emitwalo 20
Mar 11, 2024
OMUSIISI wa capati agambibwa okubba 200,000/- mu dduuka bamukubye mizibu n’atwalibwa ku poliisi ng’afuuwa musaayi. Kyokka yeekazizza n’asaba poliisi nti abaamukubye bamujjanjabe kuba yadde yabbye teri tteeka likkiriza kukuba muntu.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSIISI wa capati agambibwa okubba 200,000/- mu dduuka bamukubye mizibu n’atwalibwa ku poliisi ng’afuuwa musaayi. Kyokka yeekazizza n’asaba poliisi nti abaamukubye bamujjanjabe kuba yadde yabbye teri tteeka likkiriza kukuba muntu.
Alexandra Tumwesigye, ng’asiika capati e Kyebando mu katale ye yakwatiddwa nga kigambibwa yabbye 200,000/ mu dduuka lya Oliver Turyatunga erisangibwa ku kkubo lya Muswayiri ku Kaleerwe.
Turyatunga yategeezezza nti Tumwesigye yazze ng’ayagala okugula ebintu n’amulabiriza n’akwata mu kawunta n’akuuliita ne ssente. Baamugobye ne bamukwata ne bamukwasa poliisi. Omusango guli ku ffayiro nnamba SD REF:27/0 /3/2024.
Tumwsigye yasoose kwegaana kyokka oluvannyuma yagambye nti mwetegefu okusasula ssente n’asaba abaserikale bakkirizise abaamukubye bamujjanjabe
No Comment