Embeera ya Ssegirinya eyongedde okuwa essuubi
Mar 12, 2024
EMBEERA y’omubaka wa Kawempe North, Ibrahim Ssegirinya eyongedde okuwa essuubi oluvannyuma lw’abasawo mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi gyali mu kujjanjabibwa okutegeeza nga bwe bayinza okumusiibula wiiki eno.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Ponsiano Nsimbi
EMBEERA y’omubaka wa Kawempe North, Ibrahim Ssegirinya eyongedde okuwa essuubi oluvannyuma lw’abasawo mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi gyali mu kujjanjabibwa okutegeeza nga bwe bayinza okumusiibula wiiki eno.
Eyavuganyaako ku bwammeeya bwa munisipaali ye Nansana, Isaac Ssali omu ku baakyalidde ku Ssegirinya ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde yategeezezza Bukedde nga Ssegirinya bw’akubye ku matu era nga kati asobola okwetambuza, okulya obulungi, n’okunyumya obulungi emboozi.
Maama wa Ssegirinya amuliko mu kiseera kino mu ddwaaliro yalaze essanyu olw’embeera mutabani we gy’alimu era ne yeebaza palamenti olw’obujjanjabi bwewa mutabani we kyokka n’asaba abantu naddala Bannakawempe okwongera okumusabira asobole okudda abaweereze.
Ssali yagambye nti Ssegirinya yamutegeezezza nga bw’asuubirwa okusiibulwa obutasukka Lwakutaano lwa wiiki eno kyokka nga si waakudda mu Uganda okutuusa ng’atereeredde ddala.
Yagambye nti ono baamufunidde ennyumba okumpi n’eddwaaliro mu kibuga Nairobi w’anaavanga okudda mu ddwaaliro okwongera okumwekebejja okukakasa ng’awonera ddala.
Ssegirinya yaddusibwa e Nairobi mu ddwaaliro lya Aga Khan okujjanjabibwa mu December w’omwaka oguwedde nga yatuukira mu waadi y’abalwadde abayi ennyo.
Wiiki ewedde akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi n’ababaka ba palamenti abalala baalambudde ku mubaka Ssegirinya mu ddwaaliro e Nairobi gy’ali nabo ne bawa Bannayuganda essuubi ku mbeera ye.
No Comment