Gen. Taban Amin waakukangavvulwa ku by'okukuba kansala

Mar 20, 2024

MINISITA w’obutebenkevu Jim Muhwezi ategeezezza nga bwagenda okukangavvula Gen. Taban Amin gwebalumiriza okubeera emabega w’okukuba  kkansala w’e  Kimogora Parish mu disitulikiti y’e Kiryandongo Fred Kangume nga ono yalabibwa mu katambi nga bamuligita emigoba nte.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA w’obutebenkevu Jim Muhwezi ategeezezza nga bwagenda okukangavvula Gen. Taban Amin gwebalumiriza okubeera emabega w’okukuba  kkansala w’e  Kimogora Parish mu disitulikiti y’e Kiryandongo Fred Kangume nga ono yalabibwa mu katambi nga bamuligita emigoba nte.

Minisita okutuuka ku kino kidiridde ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola ensonga z’obwa pulezidenti okwemulugunya ku katambi akasaasaana gyebuvuddeko nga waliwo abakuuma ddembe abaweweenyula kkansala ono ku biragiro bya Amin.

Wabula Amin ye bino yabyewakana.

Mukwannukula ku nsonga eno, minisita Muhwezi agambye nti amawulire gano yagategeddeko era nga yayise dda Amin mu lukiiko abitebye nagamba nti teri muntu yenna ali waggulu wa mateeka nga singa gumuka mu vvi naye wakukangavvulwa.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});