ABASUUBUZI ba katale ke Nakawa banakuwalidde mu kkooti e Nakawa nga balaba sentebe waabwe Joseph Mudhasi asindikibwa mu komera e Luzira ku misango 7 okuli egy’okwokonona ebintu,okukuba n'atuusa obuvune ku bakozi ba KCCA.
Emisango gino Mudhasi bagimuvunaaniridde mu kkooti y’omulamuzi Frank Namanya era gyona agyeganyi naye olw’okuba omuwaabi wa gavumenti tabaddewo tamukiriza kweyimirirwa n'amusindika ku limanda mu komera e Luzira ekitabudde abasubuuzi bano.
Kigambibwa nti nga January, 17, 2024 mu Nakawa,Mudhasi ne banne bayonoona oluugi ne looka yaalwo ebya offiisi ya KCCA ,era nga yayononeramu ne ssimu ya Joseph Wangoda.
Ku lunaku lwe lumu olwo ng’ali mu offiisi ya Katale ke Nakawa kigambibwa nti Mudhasi yakuba abakozi ba KCCA okuli Micheal Sendi, Christine Dinah Naswa,Sophie Nansamba,Josephine Nakayaga Nazziwa ne Ronald Muwanga nga bona yabatusaak obuvune ku mibiri gyaabwe.
Wabula Mudhasi ng’ayita mu munnamateeka we Edward Mugabi abadde asabye okweyimirirwa ku ka kakalu ka kkooti, amutegezeza nti kitufu emisango egivunaanibwa akirizibwa okweyimirirwa naye engeri omuwaabi wa gavumenti gyatabadeewo abade tasobola kuwulira kweyimirirwa kwe.
Bwatyo asazeewo okumusindika ku limanda mu komera e Luzira okutuusa nga April, 9, 2024...
Oluvannyuma lw’omulamuzi Namanya okusindika Mudhasi mu komera kino kitabudde abasubuuzi ba katale ke Nakawa nga bakulembeddwa William George Musoke bawakanyiza emisango egyo kubanga ye gwebakuba ate kati gwebagudeko emisango...