KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde eyaliko Omulabirizi w’e Mukono, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba n’amutendereza olw’ettoffaali, n’emirimu egitagenda kwerabirwa gy’alese akoze naddala egyo egikulaakulanyizza Obuganda.Mu bubaka bwe yatisse Katikkiro Charles Peter Mayiga, yamusiimye olw’okwagala enyo Obwakabaka era nti amwenyumiririzaamu nnyo mu kuzzaawo amasiro g’e Wamala n’emirimu emirala egy’ettendo egimufudde ow’enkizo mu Bwakabaka buno.
Kabaka yategeezezza nti Bp. Ssenyimba abadde musaale mu kukulaakulanya ekitongole kya Kabaka Foundation.
Yamwogeddeko ng’abadde omulwanirizi w’okusitula embeera z’omuntu waabulijjo ng’ayita mu byenjigiriza, okulwanyisa obwavu n’enjala.
Ye Katikkiro Mayiga yagambye nti, “Bp. Ssenyimba gye yakoma okuba omukenkufu mu buli kimu gye yakoma okutegeera Obwakabaka era nsaba bannaddiini bonna n’abakulembeze abalala okwettanira ennyo enteekateeka z’Obwakabaka ng’omugenzi bw’abadde.” Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Steven Samuel Kazimba Mugalu eyakulembeddemu okusaba ng’omugenzi tannaziikibwa, yamwogeddeko ng’omusasjja abadde akulembeza amaziman’obwerufu mu buli ky’akola n’asaba abantu naddala bannabyabufuzi okumuyigirako.
Esther Nagginda Ssenyimba, nnamwandu, yasiimye bba olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwabwe ng’omwami era taata. Ssenyimba yaziikiddwa ku Lutikko e Mukono ku Lwokutaano