OMUBIRI gw'omulangira Paul Mawanda kyabaggu abadde nanyini kkampuni ya Bukoola chemicals gukomezeddwawo mu ggwanga

OMUBIRI gw'omulangira Paul Mawanda kyabaggu abadde nanyini kkampuni ya Bukoola chemicals gukomezeddwawo mu ggwanga akawungeezi ka leero.

Omubiri gw'omugenzi ga gutuusiddwa ku kisaawe e Ntebe
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

OMUBIRI gw'omulangira Paul Mawanda kyabaggu abadde nanyini kkampuni ya Bukoola chemicals gukomezeddwawo mu ggwanga akawungeezi ka leero.
Omugenzi yafiira mu ggwanga lya buyindi gyeyali agenze okujjanjabwa obulwadde bwa sukaali obwali buludde nga bumutawanya.

Omubiri gw'omugenzi nga gutuusiddwa ku kisaawe e Ntebe

Omubiri gw'omugenzi nga gutuusiddwa ku kisaawe e Ntebe

Abenganda n'emikwano nga bakulembeddwa mulekwa peter kyabaggu bebabaddewo okukwasibwa omubiri gw'omuntu waabwe.
Ku kisaawe e ntebbe gibadde miranga nakwazirana okuva mu benganda z'omugenzi oluvannyuma lwomubiri gwomugenzi okutuusibwa.
Omulambo gutwaliddwa mu maka ga Aplus e Mengo gyebagututte okugukolako.
Olunaku olwenkya omwoyo gwomugenzi gwakusabirwa ku lutikko e lubaga ku ssaawa munaAna ez'olweggulo.