Mufti aggyeemu Kenzo omwasi ku laavu ye ne minisita
Apr 06, 2024
MUFTI Sheikh Ramathan Mubajje aggye mu muyimbi Eddie Kenzo omwasi n’alaga w’atuuse n’enteekateeka z’okuwoowa minisita Phiona Nyamutoro.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
MUFTI Sheikh Ramathan Mubajje aggye mu muyimbi Eddie Kenzo omwasi n’alaga w’atuuse n’enteekateeka z’okuwoowa minisita Phiona Nyamutoro.
Kenzo yakakasiza Mufti n’abaabaddewo nti enteekateeka zigenda mu maaso era essaawa yonna waakuwoowebwa ne haki ye empya nga si mulala, ye Phiona Nyamutoro, minista omubeezi ow’e byamasannyalaze n’ebyomugagag byomuttaka. Bino byabadde ku muzikiti gwa Gadaffi ku Old Kampala ku Lwokuna, Sheikh Ramadhan Mubajje bwe yabadde asiibulula Abasiraamu.
Ku mukolo, Mufti Mubajje yayise Kenzo n’amufunza nti aludde ng’amulaba mu mpapula z’amawulire ne ku ‘social media’ nti alina omuntu gw’apepeya naye n’amugamba nti, obufumbo bwabwe yandibutukuza mu maaso ga Allah n’abuwa mukisa.
Kenzo olwamuyiseeyo yasoose kwebwalabwala, wabula Mufti bwe yamulemeddeko amubuulire ekituufu, kwe kwevaamu n’amukakasa nti tebali mu bya kukukuta era enteekateeka zigenda mu maaso era essaawa yonna waakumuleeta mu muzikiti gwa Old Kampala Mufti abawoowe.
Wabula bino Kenzo yabadde tannabimalayo engalo n’akaluulu ne bisaanikira omuzikiti ng’abaabaddewo bwe basaakaanya.
Gye buvuddeko Kenzo yasabye minisita Nyamutoro omufumbo ku kabaga ke yamutegekedde e Mutundwe okumukulisa okukoonola obwaminisita omubeezi ow’ebyobugagga obw’ensibo.
Kigambibwa nti abaabadde bazze ku mukolo baabadde tebamanyi nti Kenzo ku ky’okukulisa omuntu we okufuna obwaminisita ate yabadde agasseeko n’eky’okumusaba obufumbo mu butongole era baalabidde awo nga Kenzo ku vviivi
erimu ng’asaba Nyamutoro akkirize okumufumbirwa. Wabula kino olwawedde, Kenzo n’asaba ababaddewo ensonga eno bagikuume nga ya kyama era baleme kufulumya kifaananyi kyonna, wadde ng’abamu baabadde babikubye. Kino olwakimaze, Kenzo
n’agenda ku mutimbagano n’assaayo obubaka nti; ‘Ndeete Ndeete...’ abawagizi be kwe
kutandika okutakula omutwe nti oba agenda kubawa ki?
ALUPO YEEBAZIZZA MUBAJJE
Omukolo gw’okusiibulula gwetabiddwaako abantu ab’enjawulo okwabadde abakungu
okuva mu Gavumenti okwabadde omumyuka wa pulezidenti, Jesca Alupo nga ye yabadde omugenyi omukulu. Alupo yasiimye Sheikh Mubajje olw’ebyo by’akoledde Obusiraamu oluvannyuma n’amuwa ettu lye yabadde amwetikkidde okuva ewa Pulezidenti Museveni.
Omukolo era gwetabiddwaako n’omumyuka wa Katikkiro asooka Rebecca Kadaga, eyeebazizza Abasiraamu okukuuma obumu ekibayambye okukulaakulana
No Comment