Kanyamunyu ayimbuddwa ng'ekibonerezo tekinnaggwako lwa kweyisa bulungi mu kkomera
Apr 12, 2024
OMUSUBUUZI Mathew Kanyamunyu eyasibwa ku by'okutta omulwanirizi w'eddembe ly'abaana Kenneth Akena ayimbuddwa.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUBUUZI Mathew Kanyamunyu eyasibwa ku by'okutta omulwanirizi w'eddembe ly'abaana Kenneth Akena ayimbuddwa.
Omulamuzi Stephen Mubiru owa kkooti enkulu yasiba Kanyamunyu emyaka mukaaga olw'okutta omuntu mu butanwa oluvannyuma lwa Kanyamunyu okuyingira endagaano y'okukkiriza omusango n'oludda oluwaabi, n'aweebwa ekibonerezo ekisamusaamu...
Omulamuzi Mubiru nga November 12,2020 yasiba Kanyamunyu emyaka mukaaga kyokka n'atoolako emyezi 11 gyeyali amaze ku limandi olwo n'asigaza emyaka etaano n'omwezi gumu.
Omwogezi w'amakomera Frank Baine Mayanja anyonyodde lwaki Kanyamunyu ayimbuddwa wadde ng'ebbanga libadde terinaggwayo.
Baine agambye nti omusibe bwasibwa omwezi ogusukka ogumu kkooti emutolerako kimu kya kusatu ku kibonerezo ssinga abeera yeeyisa bulungi mu kkomera. Ne kanyamunyu bwatyo bafulumye ekkomera.
Kyokka Baine agambye nti enkola eno tekola kubasibwa obulamu bwabwe bwonna nabo abalina amabanja.
Kanyamunyu yatta Akena mu 2016 e Lugogo bwebafuna obutakkanya nga Akena akolobodde emmotoka ya Kanyamunyu kyokka omulamuzi yakkiriza nti teyalina kigendererwa ku mutta wabula obutafuga busungu bwebwamukozesa ensobi
Related Articles
No Comment