ABAZADDE bavudde mu mbeera ne boogera ebikaawu ku bagambibwa okuggalawo essomero lyabwe olw'amazzi agaalisazeeko.
Abatabuse bazadde ku ssomero lya Gavumenti erya Kamuwunga Pulayimale mu Lwera ku luguudo lwa Kampala-Masaka.
Bano okutabuka kivudde ku nnyannya okubimba amazzi nga gadda ku lukalu olwo ne ganjaalira mu mbuga y'essomero lino.
Bassentebe okuli ow'omwalo gw'e Kamuwunga Leonard Ssemmanda n'owolukiiko lw'abazadde John Mutagubya bannyonbyodde ensibuko y'amazzi gano na butya bwe gatataganyizzaamu eby'ensoma. y'abayizi baabwe.

Amazzi nga gasazeeko essomero
Bakkiriziganyizza.'n'abazadde abatawagidde kya kya kuliggals ne balaajanira Pulezidenti Kaguta Museveni ne Ssabaminisita Robinah Nnabbanja .babataase ku njega gye baguddemu.
Abazaddde abatabuse kubaddeko Tibulidio Mayambala, Catherine Nantume,Judith Babirye, Geoffrey Mutagubye, Vincent Ssebbowa,Safiina Nnankuuma,Juliet Nandagi,Gadaf Ssemakula n'abalala.
Bakkaanyizza nti essomero bwe liggalwa n'abaana baabwe eby'okusoma babikomya awo kuba tebslina zibatwala mu gabeesudde.
Ssentebe Ssemanda,Kansala Vincent Mugenyi n'abazadde olukongoolo balutadde ku baasima omusennyu mu Lwera ne basensera n'ennyanja nti be bavaako amazzi agazze gabimbira mu
ssomero.ne gatatagannya abayizi
Amyuka Ssentebe wa LCV e Kalungu Saalongo Gerald Kiggundu ne Kansala Irene Mwebe Nannyanzi be Hassipher Namubiru basabye Gavumenti esitukiremu mbagirawo okutaasa essomero lyayo n'abayizi.
Bagambye nti Gavumenti baludde nga bagiraajanira naye tebaanukulanga.
Wano balaze okutya nti amazzi gatambuliramu emisota egiyiinza okubojja Abasomesa n'abayizi.so nga disitulikiti terina busobozi bwa ssente ziggyawo kizibu kino.
Bagasseko n'obulwadde nga kkolera n'obulala obuva mu mazzi amacaafu olw'empitambi eyavudde mu kaabuyonjo z'essomero.

Abazadde n'abasomersa basattira
Wabula Mutagubya ku lw'essomero agamba nti y'abadde asembye essomero lisooke liggalwe olw'obulabe obuyiinza okutuuka ku bayizi ate bazadde baabwe ne babateekako omusango.
Okusinziira ku lubaawo lw'essomero, lirimu abayizi abasoba mu 500 naye abamu bagenze beesala.
Wabula alikulira Emuding yeebalamye kamera ng'atya bakamaabe okumunnennya.
Abazadde n'abakulembeze awamu basabye Gavumenti nti mu kifo ky'okuliggala ebatwalire ebyuma babibire erudsanwrudda n'okuliyiwako ettaka okutabgira amazzi.
Bo Abamu ku bayizi n'abasomesa abaagumidde amazzi bano Bukedde ebasing'anye mu bibiina nga bagenda mu maaso n'okusoma.