Bobi Wine asondedde abawagizi ba NUP ssente z'engatto
Apr 17, 2024
OMUVUBUKA n'omukazi abagendedde mu ngatto za langi eza kyenvu ku kitebe kya NUP e Makerere-Kavule, beewuunyisizza abantu bwe bazambuddemu ne baziwaayo wakati mu kwetonda. Wakati mu kusaakaanya, abawagizi ba NUP bakubye enduulu era ne babategeeza nga bwe babasonyiye olw'okujja ku kitebe kyabwe nga bambadde ebyambalo ebitakwatagana na kifo mwe bazze.

NewVision Reporter
@NewVision

Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu abamu gwe bamanyi nga Bobi Wine, mu ngeri etali ya bulijjo, yakutte mu nsawo naggyayo ssente n'azikwasa omuvubuka asobole okuzzaawo engatto ze.
Abawagizi nabo baamwegasseeko ne basonda ssente ne bazibawa nga babeebaze olw'okwagala kwe baabalaze nga babeegattako nga ekibiina.
Wabula Bobi yategezeezezza nti wadde nga kibasanyusa okufuna ba mmemba abapya ababeegattako, tekitegeeza nti buli abeegattako y'afuna amafuta g'okuweebwa kkaadi y'okwesimbawo ku bifo eby'enjawulo.
No Comment