SSENTEBE wa NRM owa disitulikiti y’e Wakiso, Hajji Abdul Kiyimba asabye abakulembeze ba NRM mu Wakiso okukomya enkwe n’okwerumaaluma kibayambe
okukomyawo obuwagizi bwabwe mu bantu.
Bino yabyogeredde mu nsisinkano ne bassentebe ba NRM ab’amagombolola agakola disitulikiti mu nsinsinkano gye baabaddemu ku Green Khard Gardens e Nansana nga bano baamuloopedde ensonga ez’enjawulo ze bagamba nti ze zivuddeko abawagizi baabwe ku bibiina ebirala. Bassentebe baalaze obulumi olwa bannakibiina abali mu bifo eby’enkizo mu gavumenti ne mu kibiina abatabayambye ne basalawo mu kudda mu kwerumaaluma n’okwerwanyisa kyokka nga bonna bali mu kibiina kimu.
Bano baawadde Kiyimba wiiki bbiri ng’akung’anyizza abakulembeze bano okuli ssabakunzi wa NRM, Rose Mary Sseninde, akulira PDM, Denis Galabuzi, Moses Mayanja eyakwatira NRM bendera ku kifo ky’obwassentebe, RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi, omumyuka wa ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja n’abalala be bagamba nti balemeddwa okugatta ekibiina ne badda mu kwerwanyisa ng’abantu.