Amawulire

Sipiika Among ayimirizza akakiiko akugenda okulambula eddwaliro ly'e Lubowa

SIPIIKA wa palamenti Anita Among asabye ababaka  ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumenti obutetantala kugenda kulambula ddwaliro lya Lubowa mpaka nga minisitule y’eby’obulamu emaze okubawandiikira nga ebawa olukusa.

Muwanga Kivumbi ng'alaga ebbaluwa
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

SIPIIKA wa palamenti Anita Among asabye ababaka  ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumenti obutetantala kugenda kulambula ddwaliro lya Lubowa mpaka nga minisitule y’eby’obulamu emaze okubawandiikira nga ebawa olukusa.

Leero akakiiko kano akakubirizibwa omubaka w’e Butambala – Muhammad Muwanga Kivumbi kabaddi kakulambula ddwaliro lino okulaba emirimu bwegitambula oluvanyuma lw’okusisinkana minisitule y’eby’obulamu gyebuvuddeko ne kizuulwa Ying. George Otim akulira eby’okuzimba yafiiriza gavumenti obuwumbi 286 nga afulumya ebiwandiiko ebiraga nti okuzimba kutambula ku supiidi kyokka nga bw’okutuuka mu kifo emirimu gyazingama dda.

Muwanga agambye basooka nebafuna ebbaluwa okuva mu minisitule nge ebagamba bakyale oluvanyuma lwa nga 22 April nabo kyebakiriza kubanga baali bakukyalayo ku ntandiika y’omwezi guno wabula nebakkanya ku bakukyala leero.

Wabula bano kibabuseeko ate okufuna ebbaluwa endala nga ebagamba nti abatwala ekifo balina okugulira bano eby’eyambisibwa mukulambula ebizimbe ebizimbibwa ( omuli enkofiira, jaketi, kwosa ne butusi) olwo babawandiikire bagende balambule.

Muwanga agambye nti babadde bakyali mukwewuunaganya ate ne bafuna ebbaluwa okuva ewa sipiika nga abasaba okusooka okwesonyiwa ensonga eno baleme kuwalira balinde minisitule ebategeezze ddi lwebalina okugendayo.

Kati akakiiko kaakuddamu okuyita minisitule y’eby’obulamu wiiki ejja okulaba nga bbo bawuumbawuumba alipoota yaabwe kubanga obudde bugenda wabula Muwanga akyebuuza lwaki gavumenti bweba eremereddwa pulojekiti eno tekiriza mazima neyogera nebadda ku birala