Ebisigalira by'Abajulizi bituusiddwa e Nalukolongo gyebigenda okumala wiiki nnamba

May 17, 2024

Omwaka guno guweza emyaka 60 beddu bukya Abajuilizi ba Uganda: Matia Mulumba, Karooli Lwanga ne bannaabwe 20 balangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu. Paapa Paulo VI yeeyabalangirira mu Klezia ya Petero Omutume e Roma, nga October 18, 1964. Mu Klezia Katolika, omuntu bw’alangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu kitegeeza nti ali mu ggulu, era asobola okuwolereza Abakristu bwebaba nga balina ebintu byebasabye Katonda ngabayita muye, nebabifuna.

NewVision Reporter
@NewVision

Omwaka guno guweza emyaka 60 beddu bukya Abajuilizi ba Uganda: Matia Mulumba, Karooli Lwanga ne bannaabwe 20 balangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu. Paapa Paulo VI yeeyabalangirira mu Klezia ya Petero Omutume e Roma, nga October 18, 1964. Mu Klezia Katolika, omuntu bw’alangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu kitegeeza nti ali mu ggulu, era asobola okuwolereza Abakristu bwebaba nga balina ebintu byebasabye Katonda ngabayita muye, nebabifuna.

Ebisiglira by'Abajulizi

Ebisiglira by'Abajulizi

Jubileewo ey’emyaka 60 egy’okulangibwa kw’Abajulizi mu lubu lw’Abatuukirivu Klezia y’akujikuliza ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo nga June 3. Wabula ate waliwo n’enteekateeka endala, ekoleddwa Essaza Ekkulu ery’e Kampala, ng’aliri wamu n’amasaza agoogera Oluganda amalala, okuli Masaka, Lugazi, Kasana-Luweero ne Kiyinda-Mityana. Gano gajja kujaguliza wamu jubileewo eno nga November 15, omwaka guno. Omukolo gujja kubeera ku kiggwa ky’Abajulizi ba Uganda e Munyonyo.

Wakati mu kwetegekera ekijaguzo kino, Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Semogerere y’asalawo ebisigala by’Abajulizi ba Uganda (Matia Mulumba ne Karooli Lwanga) Abaminsane ba White Fathers byebaasobola okufunako, era nebabitereka bulungi, bitambuzibwe mu bigo byonna eby’essaza ekkulu ery’e Kampala, Abakristu basobole okubikubako eriiso, ate n’okubissaamu ekitiibwa. Ebisigala bino byasokera mu kigo ky’e Mitala-Maria, ate gyebyajjibwa nebitambuzibwa mu bigo ebirala byonna ebikola Vikariyeeti eno. Ngabivudde e Mitala-Maria, byatwalibwa mu Vokariyeeti y’e Wakiso.

Ate jjo ku Lwokuna ku Lwokuna (nga May 16) ebisigala bino by’aleeteddwa mu kigo kya Klezia Lutikko e Lubaga. Byaleeteddwa Bwanamukulu w’e Namayumba, Faaza Dennis Ssebuggwawo eyabikwazizza Bwanamukulu w’e Lubaga, Faaza Achilles Mayanja.

Ebikujjuko

Ebikujjuko

Oluvannyuma, Abakristu nga ngabakulembeddwa Faaza Maynja n’Absaserdooti abalala, baasituude ebisigala binom nebatambula nabo mu nnyiriri, nebabitwala mu maka ga Bakateyamba e Nalukolongo.

Bweyabadde ayaniriza ebisigala bino, Faaza Mayanja y’ategeezezza nti kyabadde kirungi nnyo ebisigala bino okutwalibwako ku Lutikko kuba ekifo weyazimbimbwa lwelwali Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I, era weyasinziira okuwa Faaza Mapeera nebaminsane banne ab’ekibiina kya White Fathers olukusa okusomesa eddiini mu Bwakabaka bwe.

Yateeezezza nti ekimu kubyewuunyo Abajulizi byebaakola nebasobola okulangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu kwekuwonya Ababiikira babiri obulwadde bwa Kawumpuli mukiseera ekyo obutaalina ddagala, Y’annyonnyodde nti wadde obulwadde buno tebukyaliwo, eggwanga Uganda lirina kawumpuli ow’engeri endala, okugeza obwavu, ekibba ttaka, ettemu, obunyazi, enguzi, obukyayi, okusosolagana mumawanga, n’asaba Abakristu basabe Abajulizi bawonye eggwanga kawumpuli ow’engeri eno alirimu.

Faaza Richard Nnyombi ow’ekibiina kyaba White Fathers y’ategeezezza nti kyabadde kisaanye nnyo ebisigala by’Abajulizi okutwalibwa e Nalukolongo kubanga 13 kubo gyebaabatirizbwa, Y’asabaye Abakristu okusaba ennyo Abajulizi balangibwe mu lubu lw’Abesiimi ate oluvannyuma olw’Abatuukirivu.

E Nalukolongo ebisigala by’Abajulizi byakubeererayo ddala okutuusa nga June 1. Mu nnaku ezo, zonna, Abasaserdooti bajjanga kubeerayo nga bejjusisa abantu, okuva ku ssawa 9 ez’olw’eggulo. Ku ssaawa 10 wajjanga kubaawo omusomo ku Bajulizi, ate ku ssaawa 11 ekitambiro kya mmisa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});